ABAZADDE balabuddwa ku kabi akali mu kukaka abayizi okutwala amasomo gebateesiimidde era nga tegali mu birooto byabwe okuva mu bibiina ebyawansi.
Omuyizi bw'akula ng'atuuse mu bibiina eby'awaggulu omuli S.4 oba S 6 aba asobola bulungi okumanya amasomo gaasobola okutwala era agali mu biriwoozo bye
Patricia Okiria nga ye Mumyuka wa Kaliisoliiso wa Gavumenti (IGG) yagambye nti abamu ku bazadde baagala abaana baabwe batwale amasomo nabo gebaatwala ebiseera ebimu nga tekisiboka wabula nga kifiiriza muyizi.
Bino yabyogerede ku mukolo gw'okufulumya ebigezo ebya Cambridge ku mutendera gwa siniya eyomukaaga GCE- (A-level) mu ssomero lya Vienna College e Namugongo ku Lwokubiri n'atendereza minisitule y'ebyenjigiriza olw'okukyusa ensomesa (UNEB Curriculum ) nga kati ewa omuyuzi okwerowooza yekka n'okubateekateeka okusobola okweyimirizaawo mu bulamu bwabulijjo

Akulira essomero lya Viena Collage Haji Kakiika ng'annyonnyola
Ye Mohammed Kakiika omukulu w'essonero lino yagambye nti ekimu ku kibafudde ab'enjawulo n'okukola obulungi mu bigezo bya Cambridge y'enkolagana ennungi wakati w'abazadde ,abasonesa ssaako n'abayizi.
Yagambye abayizi ab'obuwala beeyongedde okukola obulungi okusinga ku balunzi naddala mu.masimo ga Science wadde ng'abalezi nabo bafuba
Abayizi bonna abaweera 145 abatuula ebigezo bino basobodde okuyitira waggulu .
Ye Brig.General Stephen Kusasira okuva mu ttendekero ly'Amagyee Jinja erya National Defence College nga yaakulira amasomo ag'enkizo yasanyukidde ekitongole ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB olw'ensomesa kati eyeefananyiza ku Cambridge eyongedde abayizi obuyiiya n'okusoboka okwetandikirawo emirimu wadde nga tebafunye mukisa kweyobgerayo......