Janet Kataha Museveni asabye abalina amasomero g'obwannannyini okukulembeze eby'enjigiriza eby'omutindo

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Kataha Museveni alaze obwetaavu bw’enkolagana wakati wa gavumenti ne bannanyini masomero g’obwannanyini okusobola okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga.  Janet Kataha Museveni asabye abalina amasomero g'obwannannyini okukulembeze eby'enjigiriza eby'omutindo

Janet Kataha Museveni n'abakungu b'ebyenjigiriza
By Sharon Nabasirye
Journalists @New Vision

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Kataha Museveni alaze obwetaavu bw’enkolagana wakati wa gavumenti ne bannanyini masomero g’obwannanyini okusobola okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga. 

Bino bibadde ku Green Hill Academy e Kibuli, mukyala Museveni gyasisinkanidde bannanyini Masomero ag’obwannanyini , abasomesa, n’abakwatibwako  (inaugural education dialogue  for proprietors and owners of private schools and institutions ) .

Mukyala Museveni asiimye omulimu omukulu amatendekero g’obwannannyini gwe gakola mu kujjuliza kaweefube wa gavumenti naddala mu kussa mu nkola enteekateeka z’okusomesa abantu bonna. Wabula yalabudde obutakulembeza magoba nga bafiiriza omutindo gw’ebyenjigiriza n’ebbeeyi.    

Agamba nti amatendekero g’obwannannyini agasukka mu 50% tegayingidde mu bujjuvu enkola ya Education Management Information System (EMIS), ekiremesezza enteekateeka ennungi.  

Asabye abamasomero g’obwannanyini okukomya okuwa emirimu abasomesa ba gavumenti kubanga enkola eyo gyayise eya “zigzag”  yereetedde ebyenjigiriza okuba ebyekiboggwe nga abasomesa tebalinaako wamu webatudde kusimba makanda kusomesa kale nga kigwaanidde buli musomesa okuba omumativu mu mutima eri oyo eyamuwa omulimu , nga owa gavumenti asomesa awo wokka awamuweebwa okusomesa ate n’oyo asomesa mu ssomero lyobwannanyini naye atuule wamu awe abayizibe ekisinga okuba ekirungi .

Bannannyini masomero nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekibiina ekitaba amatendekero g’obwannanyini  mu ggwanga ki   National Private Educational Institutions Association (NPEIA) Hasadu Kirabira basabye gavumenti okukendeeza ku misolo gyebinika amasomero g’obwannanyini kuba gino emisolo tegyesigamwa ku nyingiza oba bunene bwa ssomero , wadde abayizi abalirimu ekintu kyebasabye minisita w’ebyenjigiriza atunulemu