Amawulire

Gwe bateeberezza okutta embizzi bamukubye ne bamutta e Kamuli!

ABATUUZE ababadde beekyaye, bakkakkanye ku musajja ow'emyaka 45 ne bamukuba ne bamutta n'amayinja, nga bamuteebereza okubba embizzi.

Gwe bateeberezza okutta embizzi bamukubye ne bamutta e Kamuli!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABATUUZE ababadde beekyaye, bakkakkanye ku musajja ow'emyaka 45 ne bamukuba ne bamutta n'amayinja, nga bamuteebereza okubba embizzi .

 

Fred Lubaale omutuuze w'e Busamu zzooni mu muluka gw'e Kiige mu ggombolola y'e Kagumba e Kamuli, gwe bassizza n'amayinja nga bamulumiriza okubba embizzi za Sanon Kisame ssatu.

 

Kigambibwa nti ensonga, zaasooka kuloopebwa eri ssentebe wa LC1, James Okurut nga bali wamu n'omumyuka we, Francis Ikuluba era wano kwe kuyita poliisi eyagenze n'embwa n'ebatwala ewa Lubaale.

 

Kitegeezeddwa nti yasoose ku dduuka, abatuuze ne bamugoba ne bamukuba amayinja ne bamutta.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, avumiridde ekikolwa ky'okutwalira amateeka mu ngalo era n'alabula abantu okwongera okukuuma ebisolo n'emmere naddala nga tugenda mu nnaku enkulu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Mayinja
Mbizzi