GAVUMENTI eraze amasomero ga Pulayimale ne Siniya g’egenda okuzimba okwetooloola eggwanga mu bajeti y’ebyensimbi ey’omwaka ogujja 2022/2023.
Agamu ku masomero gannansangwa agabadde mu mbeera embi galowoozeddwaako. Tororo Girls School ne Immaculate Heart Rukungiri gaaweereddwa obuwumbi 2 n’ekitundu gaddaabirizibwe.
Mbale Secondary School lyaweereddwa akawumbi kalamba ez’okuzimba ekidiba ekiwugirwamu eky’omulembe nga beetegekera empaka z’amasomero ga siniya eza East Africa ze bagenda okutegeka.
Akawumbi kalamba kaweereddwaayo okutegeka empaka z’amasomero ez’okuyimba, okuzina n’okuzannya katemba.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo by’abayizi abasoma obwa nnansi n’obuzaalisa ekya Uganda Nurses and Midwives Examination Board (UNMEB) kyaweereddwa obuwumbi bubiri n’obukadde 188.
Ettendekero lya Nakawa Vocational Training Institute ligenda kufuna obuwumbi bubiri lyekulaakulanye mu nteekateeka y’okweyubula okufuuka ‘college.’
Ekitongole kya Directorate of Industrial Training ekivunaanyizibwa okulondoola omutindo gw’ebyenjigiriza kigenda kufuna obuwumbi munaana. Zigenda kweyambisibwa okuwandiika abayizi n’okugezesa abayizi ba S.3 n’abali wansi mu nkola ya bonna basome wa siniya.
Aba Uganda Business and Technical Examinatlon Board (UBTEB) abavunaanyizibwa ku bigezo by’amate-ndekero g’ebyobu-suubuzi n’emikono baweereddwa obukadde 600 bazigulemu emmotoka ssatu ez’ekika kya Double Cabin.
Gavumenti era yategeezezza nti egenda kusaasaanya obuwumb16 okuddaabiriza amasomero ga siniya aga Gavumenti mu ggwanga.
AMASOMERO GA SINIYA AG’OKUDDAABIRIZA
Mpanga Muslim SS (Disitulikiti Butambala), Kasambya Quran SS ( Mubende District, St. Benedict Catholic SS, Mubende District, St. Aloysius Lwamaggwa, Rakai District, Ojilai SS, Tororo District, Rugarama SS, Kitagwenda District, Katenga Secondary School- Rwampara District ne Kamuli Secondary School - Rakai District.
Kikandwa UMEA SS Kasanda District, St. Micheal SS, Kamwenge District, Bishop Balya Girls SS, Kamwenge District, Micindo Mistellbach SS Kamwenge District, St. Joseph SS Rushasha Rukungiri District, Kabira SS Mitoma District, St. Augustine Vocational SSS Ruharo Bushenyi District, Trust Academy Mbunga Sub County, Kasese District, Ntonwa SS, Kamwenge District.
Agora SS, Soroti City, Kolir Comprehensive SS, Aminit High School, Bukedea District, Nakabale SDASS Irongo Luuka District, Rwoburunga SS Mitoma District, Gweri SS, Soroti District, Kibona Vocational SS Bushenyi District, Rutoto SS Ndangaro Rubirizi District, St John Mary Vianney Community SS Fort Portal City, St. Andrew SS Mayuge District.
AGA PULAYIMALE AGAGENDA OKUDDAABIRIZIBWA
Nkundwa Primary School-Lwengo, St. Paul Kacwamango Primary School; Mubende District, Busonga Parents Primary School; Rubirizi District, Busimiro Primary School Kampala B 1 Parish; Kamwenge District, Kabukwiri Primary School; Rubirizi District, Ngoma Primary School; Rwampara District, St. Andrew Primary School Bugodi; Mayuge District, Kipucu Primary School; Kamwenge District.
AMASOMERO AGAGENDA OKUGAZIYIZIBWA
Kasanda SS Kasanda District, Gombe SS Butambala, Katunguru Seed School Rubirizi District, Kakakanju SS Bushenyi District, Nganwa High School, Sheema District, Kabbo Seed Secondary School- Mubende District, Okrvara/Molo Primary School- Tororo District, Kanyashande Primary School - Kanungu District, St. Peters SS Ngongonta- Rakai, Kanoni Primary School- Lwengo District.
Bubutia Primary School - Namutumba District, Kimuli Primary School- Rakai District, Good Shepherd Primary School- Buyende District, Apokori Primary School Merikit, Kapelebyong Primary School - Kapelebyong District, Napianenya Primary School- Nakapiripirit