Amawulire

Eyasaba okukweka abajulizi mu gwa Besigye bamuyise mu kkooti abinnyonnyole

KKOOTI eragidde omuwaabi wa gavumenti eyasaba okukweka abajulizi mu musango gwa Besigye alabikeko mu lutuula oluddako anyonyole abawawabirwa ensonga kwasinziira okukweka abajulizi

Besigye ng'ali mu kkooti
By: Margret Zalwango, Journalists @New Vision

KKOOTI eragidde omuwaabi wa gavumenti eyasaba okukweka abajulizi mu musango gwa Besigye alabikeko mu lutuula oluddako anyonyole abawawabirwa ensonga kwasinziira okukweka abajulizi.

Omulamuzi Emmanuel Baguma owa kkooti enkulu mu Kampala okuyisa ekiragiro kino yeesigamye ku kwanukula kw’omujaasi Capt. Denish Oola Oya kweyasaamu ng’awakanya eky’oludda oluwaabi okukweka abajulizi omukaaga nasaba kkooti ajje abeeko byatangaaza.

Besigye ng'ali mu kkooti

Besigye ng'ali mu kkooti

Joseph Kyomuhendo nga muwaabi mu ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti yakuba ekirayiro mu kkooti nategeeza nti abajulizi abo ssinga ebibakwatako bitekebwa mu lujudde nebiweebwa besigye nebanne kiteeka obulamu bwabwe mu matigga ssaako obwa bantu baabwe nolwekyo olwebyokwerinda byabwe biteekebwa mu matigga.

Kyomuhendo yayongerako nti abamu ku bantu ba Besigye baatandika dda okutiisatiisa abajulizi b’oludda oluwaabi n’olwekyo ssinga nebano balagibwa ,bandibatusaako obulabe olwobujulizi bwabwe.

 

Besigye ne Lutale nga bayita mubannamateeka baabwe abakulemberwa Martha Karua baakalmbidde nebasaba kkooti egobe okusaba kw’oludda okwo kubanga tebalina nsonga ebakwesa bajulizi abaleetedde kkooti amazima ngate omusango gwebamuvunaana bagamba gwannaggomola n’olwekyo okukweka abajulizi kijja kulemsesa okunonyereza ku bajulizi abo n’okubusabuusa obujulizi bwabwe ssaako okuteekateeka obulungi ebibuuzo ebyandibabuuziddwa ku bujulizi bwabwe.

Whatsapp Video 2026 03 31 At 12.26.23

Whatsapp Video 2026 03 31 At 12.26.23

Mu kirayiro kyeyakubye ,Besigye yagambye nti okukweka abajulizi kubeera kulinyirira ddembe lye okuwulirwa mu bwenkanya, era teri bujulizi bw’amazima buleeteddwa kuwagira kya Kyomuhendo ng’ate baakikozesa kulemesa bibuuzo ebyandibuziddwa abajulizi abo.

Wadde Besigye ne Lutale baawakanya ensonga za Kyomuhendo kyokka baali tebasabye alabikeko mu kkooti okubaako ebibuuzo byayanukula kyokka Capt Oola ngayita munnamateeka we Hanifer Namakula naasaba omukulu oyo alabikekeo mu kkooti abeeko byamubuuza.

Omulamuzi yasinzidde ku kusaba kwa oola nalagira Kyomuhendo nagamba nti n’abawaabi ba gavumenti Richard Birivumvuka ne Thomas Jatiko tebalina kyebayanukudde ku kya Kyomuhendo okujja. Baguma yayongeddeko nti Oola bwanabuuza ebibuuzo tewali kikugira Besigye ne Lutale nabo okubuuza kubanga bavunaanibwa wamu n’olwekyo bonna bakumusoya byebagala  nga April 24,2026 omusango lwegunadda mu kkooti.

Besigye ng'ali ne lawyer we Lukwago

Besigye ng'ali ne lawyer we Lukwago

Kyokka mu kkooti bannamateeka baasoose kusaba ensonga z’oludda oluwaabi zigobwe kubanga abawaabi ba gavumenti baabadde tebaliiwo mu kkooti ng’ate tebawadde nsonga yonna.

Lukwago nategeeza kkooti nti abawaabi ba gavumenti obutabaawo kiraga nti omusango gubalemeredde ng’ate beebawaaba ,wabula omulamuzi yabadde yakalagira nti baweebweyo omukisa gumu ogusembayo, ate ab’oludda oluwaabi nebatuuka kyokka kyayongedde kutabula Lukwago nebanne era nebasaba bano bakangavvulwe nga basasulira ebisale oludda oluwaabi bwerusasanyizza ku lunaku olwo.

Lukwago era yabuulidde kkkooti oludda oluwaabi lukandalirizza nnyo omusango ngate  baakasaba okweyimirirwa emirundi ena nga kkooti ekugoba ,omulamuzi nawuliriza ludda oluwaabi nga basibe bali mukkomera ekiseera ekiwanvu.

Tags: