Eyagingirira ebbaluwa z'obufumbo ng'ayagala okwewola gumusse mu vvi

May 09, 2024

Omusubuzi w'Embaale eyagingirira ebbaluwa y'obufumba n'ekigenderwa ekyokwewola ssente mu Bbanka akiguddeko bw'asindikiddwa ku limanda e Luzira ku misango egigambibwa nti yagingirira ebiwandiiko nafuna obukadde bwesimbi 200 okuva mu bbanka ya Diamand Trust Bank.

Christopher Kibuuka n'ali mu kaguli

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

Bya HARRIET NAKALEMA

Omusubuzi w'Embaale eyagingirira ebbaluwa y'obufumba n'ekigenderwa ekyokwewola ssente mu Bbanka akiguddeko bw'asindikiddwa ku limanda e Luzira ku misango egigambibwa nti yagingirira ebiwandiiko nafuna obukadde bwesimbi 200 okuva mu bbanka ya Diamand Trust Bank.

Christopher Kibuuka 47 omutuuze we Mbaale  North Divizoni mu disitulikiti ye Mbaale yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi n'amusomera emisango omuli negyokufeera ekyapa ky'ettaka.

Okusinziira ku mpaaba ya kkooti kigambibwa nti wakati wa February ne April 2023, Kibuuka n'abalala abatanakwatibwa yagingirira ebbaluwa y'obufumbo  ngali ne agambibwa okuba erinnya yakozesa Esther Namono ababiri bawaayo ebbaluwa eraga nti bafumbo eri Bbanka era nga ebbaluwa eno yali ekiraga lunye nti yatekebwako omukono akwasaganya eby'obufumbo okuva mu kkanisa ye Namirembe eyaba kurisitaayo.

Emisango emirala kigambibwa nti Ono era yagenda maaso n'okugingirira ekyapa ky'ettaka erisangibwa  bulooka 246 poloti 823 erisangibwa Ekyeyitabya  mu kyandodo nga balaga nti kyatekebwako omukono akwasaganya ensonga z'ettaka mu kcca, era kigambibwa yagenda mu maaso ne yewola obukadde 200 eza Uganda nga akozesa ebiwandiiko ebigingirire. Kibuuka emisango gyonna yagyegaanye wabula omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze yategezezza kkooti nga okunonyereza ku musango bwekuwedde era n'asaba okubawa olunaku okutandika okuwulirwa omusango. Omulamuzi Kayizzi yamusindise ku meere e Luzira okutuusa nga April 23, 2024. okusaba okweyimirirwa, kuba Kibuuka yabadde talese bamweyimirira.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});