Kkooti ewunuukiridde ng’omuwaabi wa Gavumenti alombojja engeri omusajja omugezi
w’omu Kampala gye yafera ssente obuwumbi musanvu ku bagagga b’omu Kampala. Akawumbi kalimu obukadde 1,000. Ssente yanyagiddemu eza Ham (Hamis) Kiggundu eyagula ekisaawe ky’e Nakivubo era nnannyini akeedi ezeetoolodde Nakivubo ng’asuubulira mu kkampuni ya Ham Enterprises. Yamunyaze ali ne muganda we Yassin Sentongo Segawa.

Kavuma ng'ali mu kkooti
Ono ye Honest Kavuma kyokka ng’asinga kweyita “Champagne Papi”. Agguddwaako emisango 35 era kkooti n’emusindika mu kkomera e Luzira.
Omuwaabi wa Gavumenti, Judith Nyamwiza yattottodde ng’anyumya olugero. Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Marion Mangeni naye yalabise ng’awuniikiridde bwe yabadde tannamusindika Luzira. “Olugero lwa awo olwatuuka”
lutandika nti omuvubuka Kavuma yatuula wansi osanga ng’ali ne banne ne batetenkanya okunyaga abagagga. Olwo Ham yali amaze okukutula ddiiru y’e Nakivubo.

Kavuma yafuula amaloboozi ng’omugagga bifeekeera akulira ttiimu esinga okucanga akapiira e Germany eya Bayern Munich.
Yafuuwa Olugirimaani ng’ali ne bafere banne abavvuunula okuzza mu Luzungu. Yatuuka Ham mu busomyo bwe yamulaga bwe kiri ekyangu okufuula Nakivubo ng’ebisaawe by’Abazungu. Ekyali kyetaagisa ssente zokka okugula kapeti oba ebiwempe eby’omulembe ebyaliirirwa mu kisaawe olwo Nakivubo afuuke kakeeka.

Yassin Ssentongo mugamnda wa Ham nga bali mu kkooti
Enkiiko ezaddako wakati wa Kavuma Omugirimaani ne Ham nga ziri ku mutimbagano (kompyuta) mu nkola ya Zoom, Kavuma yatemaatema emiwendo gy’ebyetaagisa Ham okusasula.
Buli kye baayogeranga nga Kavuma Omugirimaani abissa mu buwandiike mu nnimi zombi Olugirimaani n’Olungereza n’abiweereza Ham. Obufere buno bwaliwo wakati
wa March 2020 ne August 2021 ng’ensi eri mu muggalo gwa corona. Ddiiru esooka yalimu omu ku batendesi ba Bayern, Mathias Brosamer okujja kuno atandike pulogulaamu y’okutendeka abaana abato mu Uganda. Bwe bakuguka bagende okuzannyira mu Bayern.
Wano Ham ng’omusuubuzi yalabawo ssente n’akkiriza ddiiru egende mu maaso. Kavuma Omugirimaani yakozesa ebbaluwa zino n’ekifo kye yali yeewadde mu Bayern n’azitwalira Ham okumuwa ssente z’okuzimba ebisulo n’okukola ku byentambula y’ennyonyi n’abakugu be yali aleeta.
Wano yavaawo ne ssente obukadde 170 okugenda eka mu Bayern mu Germany n’okukomawo. Endala obukadde 41,524,000 okupangisa ennyonyi, abakungu ba Bayern mwe banaatambulira nga bali wano.

Kavuma ng'atuuka mu kkooti
Yasaba obukadde 106,200,000 ez’okugulira abakungu ba Bayern ebintu bye banaakozesa nga batuuse wano. Gattako obuwumbi mukaaga n’obukadde 609 nga zino zaali zaakukola ku ntegeka okuzimba abatendeka abaana we banaasula, ebifo abaana we bazannyira nn’okutendekebwa mu pulojekiti eyali egenda okumala emyaka 10.
Pulojekiti erimu n’okussa kapeti mu Nakivubo.
Okwongera okulaga nti alina ekifo ekinene mu kiraabu ya Bayern, Kavuma yaleeta ebbaluwa okuva ewa ambasada wa Germany mu Uganda, Mathias Schauler n’eza banne bwe baddukanya Bayern okuli Daniel Hogele (Director International Business and Strategy mu Bayern), Christopher Baldwin nga zonna zikakasa nti akiikirira Pulezidenti wa Bayern mu Uganda era byonna by’akola babimanyi.
Bwe yali e Germany ng’ayogera nga ye Pulezidenti wa Bayern ate bwe yasisinkana Ham ne Segawa maaso ku maaso mu Uganda nga yeeyita akiikirira Pulezidenti wa Bayern.
Yavunaaniddwa mu kkooti bbiri.
Mu kkooti endala ey’omulamuzi Siena Owomugisha yavunaaniddwa emisango etaano. Mu gino; Muganda wa Ham, Yasin Segawa Ssentongo yamuggyako ssente endala obukadde 307. Zino yazimufera amulimbye nga bwe yali agenda okugula kapeti ezannyirwako omupiira mu kisaawe. Mu musango guno, kigambibwa nti yamukakasa nga bwe yali agenda okugenda mu Poland okugula kapeti zino era olw’okuba yalina ebiwandiiko ebijingirire ebiraga nti ye Pulezidenti wa Bayern, yakkiriza bye yali ayogera kyokka n’amubbirayo. Yasabye yeeyimirirwe kyokka omulamuzi Siena Owomugisha n’agaana kubanga ayinza okudduka okuva lw’alina obutuuze bwa Uganda ne Germany. Emisango giddamu Lwakutaano March 18.