EVELYN Nshemerirwe yafudde mu engeri etannategeerekeka ekyenyamize ennyo abayimbi, bannakatemba n’ekisaawe ky’amasanyu.
Ono yalabikirako mu vidiyo y’omuyimbi Pallaso emanyidwa nga ‘Hana’ era alese omwana ow’omwaka ogumu.
Omwana ono agambibwa okubeera w’omukozi w’oku ttivvi emu amanyiddwa nga Mc Casmir eyamukungubagidde ku mikutu gya yintanenti.
Evelyn yeegasse ku bawala abalala abaafa abaalabikirako mu vidiyo z’abayimbi okuli Hidaya Mash (Kiggwa Leero) ne Fif Ochora (Muzanyo-Voltage Music)