ENKUBA ey'amaanyi etonnye mu bitundu by'olusozi Masaba n'ereka amayumba 85 nga gabuutikiddwa ettaka eryabumbulukuse.
Bino byabadde mu magombololamukaaga mu disistulikiti y'e Namisindwa.
Amagombolola agaakoseddwa kuliko; Bungati, Buwambete, Busela, Bukulungi, Bushibuta ne Bukhasame.
Ssentebe wa LClll ow'e Buganti,Stephen Wakholi agamba nti embeera eyavuddeko ettaka okubumbulukuka be bantu okutema ennyo emiti egyali gikwata ettaka ku
lusozi luno ate n'enkuba etasalako ennaku zino.
Yagambye nti abaakoseddwa kuliko; Tomas Nasimolo, Robert Laso, Moses Wakhata, Joseph Kutosi, Stephen Matembela, Alex Matembela, Mutenyo Kibeti ne Rogers Tingu nga mu kiseera kino bali mu kufuna bujjanjabi mu ddwaaliro lya Butuwa Health
Center Illl e Kato mu disitulikiti ye Manafa.
Abantu abatalina waakusula baatwaliddwa mu masomero, kyokka ekyeraliikiriza okusoma kunaatera okutandika.
Emma Bwayo, kkansala ate nga ye ssentebe w'abavubuka mu Namisindwa agamba nti tebannazuulayo mulambo gwonna naye abantu baakoseddwa nnyo oluvannyuma
lw'okukubwa amayinja agaabadde gakuluggusibwa ettaka n'amazzi mu nkuba eyatonnyedde ennaku ebbiri nga tesalako.
Agamba nti abantu baafiiriddwa emmwaanyi ezibadde zituuse okunoga n'ebisolo omuli ente n'embuzi ssaako abamu ku balunzi b'enkoko nazo zaasaanyeewo.
N'agamba nti abasinga baabadde baakafuna ensimbi za PDM ez'okubaggya mu bwavu.