Amawulire

Ensonga lwaki osaanye ozikize mmotoka ng'onywa amafuta ku ssundiro!

AMATEEKA agafuga ebidduka ebiba bigenda okunywa amafuta ku masundiro gali nti, ddereeva alina okusooka okuzikiza yingini ate n’emmotoka okusigala nga nkalu.

Ensonga lwaki osaanye ozikize mmotoka ng'onywa amafuta ku ssundiro!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

AMATEEKA agafuga ebidduka ebiba bigenda okunywa amafuta ku masundiro gali nti, ddereeva alina okusooka okuzikiza yingini ate n’emmotoka okusigala nga nkalu.

Kino wadde kiri bwe kiti abagoba b’ebidduka bangi tebakigoberera ekiyinza okuvaako obuzibu.

Joseph Mukasa, akulaze ebiyinza okubaawo ssinga ekidduka kisigala kitokota nga bakissaamu amafuta.

Amafuta ga bulabe nti, ssinga wabaawo obuzibu kyangu okukwata omuliro.

Buli yingini lw’eba etokota ebaako amasannyalaze g’omuliro g’emansula. Gano oluusi gayinza okuvaako omuliro.

Okuzikiza yingini kiyamba okutaasa emmotoka ssinga eba eteekeddwaamu ekika ky’amafuta ekitali kyayo obutayonoona byuma birala, wabula nga balina kusumululako ttanka ne bagyozaamu.

Bwe muba wabweru wa mmotoka kyangu okumanya amafuta ge bakuteeramu era omanya nti, assaamu amafuta amalirizza nga n’ekisaanikira akizzizzaako olwo n’osimbula bulungi.

Tags:
Mafuta
Ssundiro
Kuzikiza