ENKOLA y’akakiiko k’ebyokulonda okuwandulamu abantu be kaali kawaandiisa okuvuganya ku bifo eby’enjawulo, ekanze ab’oludda oluvuganya Gavumenti nga tebamanyi kiki ekigenda okuddako ku balala abalinayo emisango.
Akakiiko kaatandikira ku kifo ky’omubaka akiikirira abakadde mu buvanjuba bw’eggwanga ne kaggyamu Joram Mpande Kigenyi, nga kamulanga okujingirira emikono era ne kalangirira Ofwono Opondo nti ayiseewo tavuganyiziddwa.
Bibadde bikyali awo, akakiiko ke kamu ne kalangirira minisita omubeezi ow’ebyobugagga eby’omu ttaka, Phiona Nyamutoro, nti ayiseewo tavuganyiziddwa ku kifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Nebbi, oluvannyuma lw’okuwandulamu abadde avuganya ku kaadi ya NUP, Mercy Rebecca Abedican.
Mu nsala y’akakiiko, keesigamye ku bujulizi bw’abantu babiri Abedican be yali yawaayo nga bamusemba ku bantu 10 abalagirwa mu mateeka. Abantu bano begaana okusemba Abedican, ne bagamba nti emikono gyabwe tebamanyi gye yagiggya, era bo bawagizi ba NRM nga tebalina nsonga lwaki bandibadde basemba owa NUP.
Mu nsala akakiiko, kagamba nti Abedican teyaleeta bujulizi bulaga nti abantu bano abaamweganyi baamuwa emikono, era ne kamuwandula.
Okusinziira ku tteeka erirung’amya okulondebwa kw’ababaka ba Palamenti erya Parliamentary Elections Act 2005, akawaayiro ak’e 11, omuntu okukuwandiisa nga omubaka olina okujja n’emikono ekitono ennyo 10 egy’abalonzi abali mu kitundu ky’ayagala okukiikirira.
SSENYONYI NE WALUKAGGA BASULA KU MAGGWA
Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, Joel Ssenyonyi, ne ssentebe wa
Kyengera Town Council, Mathias Walukagga, nabo ensala z’akakiiko zibatadde ku bunkenke, olw’emisango egyabawawabirwa akakiiko gye katannaba kuwaako nsala.
Ssenyonyi n’abalala abavuganya ku kifo ky’omubaka akiikirira Nakawa Division West mu Palamenti, munnaabwe bwe bavuganya Ivan Bwowe yabawaabira mu kakiiko ng’asaba kabasazeemu kubanga bwe baali basaba, baasaba kifo kya Nakawa West ekitaliiyo mu mateeka.
Bwowe ye agamba nti ye yekka eyasaba okuvuganya ku kifo kya Nakawa Division West. Ate ye Walukagga baamuwawabira nti biwandiiko bye eby’obuyigirize bya lusuluuju era tebyenkanankana na siniya eyoomukaaga esabibwa ku bantu abaagala okuvuganya ku bifo by’obubaka bwa Palamenti.
Munnamatteeka wa Ssenyonyi ne Walukagga, Erias Luyimbaazi Nalukoola yagambye nti akakiiko kaamala dda okuwuliriza enjuyi zombi, era balinze nsala yaako.
AVUGANYA KABANDA NAYE ALI KU BUNKENKE
Henry Muhumuza avuganya David Kabanda ku kifo ky’omubaka w’e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende, eggulo yasiibye ku kakiiko k’ebyokulonda, nga aleppuka n’abalonzi abaamuloopye nti egimu ku mikono egyamusemba mijingirire.
Abaalopye okuli Innocent Musinguzi ne Phillip Byamukama nga bagamba nti Muhumuza yajingirira emikono gy’abamu ku baamusemba babiri.
Muhumuza yagambye nti abantu bano ababiri abaamuvuddemu, emikono baagimuwa misana ttuku ng’ensi yonna eraba, kyokka kati akuba amasimu gaabwe tebakyagakwata,
ate omu ku bo yamugamba nti ye yali amanyi assaako Mukono kufuna ssente za PDM teyamanya nti byali bya kusemba muntu kwesimbawo.
Bwe yabadde ajja okwewozaako, yazze n’abantu abawerako okuva e Kasambya okuwa obujulizi nti ddala baaliwo ng’ababiri abeemugulugunyizibwako bamusemba.
Yasabye akakiiko k’ebyokulonda okukozesa obukugu, amazima n’obwenkanya mu kusala omusango guno kubanga wayinza okubaawo Bannabyabufuzi abaasasudde abantu bano babaveemu.
Yagambye nti singa akiiko k’ebyokulonda kakola ensobi ne
kakozesebwa bannabyabufuzi ekifaananyi kyako kijja kwonooneka mu maaso ga Bannayuganda.
AKAKIIKO KANNYONNYODDE
Amyuka omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda, Paul Bukenya, yagambye nti; Tewali muntu yenna akakiiko gwe kayinza kuwandula nga tawuliriziddwa, era buli gwe baawabira bamuyita ne yeewozaako.
Bukenya bwe yabuuziddwa ku ky’abantu abaaleeta emikono egisukka mu 10 mu kakiiko oba nabo bakosebwa embeera eno, yagambye nti kibatwaliramu kubanga akakiiko kaba kaagala emikono 10 gyokka, era bwe kagifuna tekaddamu kukebera mirala. Kati oli bw’akuwaabira ku egyo e 10 ne kisangibwa nga mulimu gye wajingirira, bakuggyamu buggya naye tebaddayo kukebera mikono mirala gye wali obatwalidde.
Ku ky’abantu abayinza okwefuula ne beewakana okukuwa emikono nga baweereddwa ssente, yagambye nti akakiiko kalina obukugu okunoonyereza nga kayita mu kwekenneenya abajulizi bonna b’otutte, era we katuukira okuwa ensala kaba kazudde ani alimba ku mwembi.
Wabula Bukenya yagambye nti bw’oba tomatidde, na nsala y’akakiiko, osobola okugenda mu kkooti ne weekubira enduulu.
BANNAMATTEKA BAWADDE AMAGEZI
Bannamateeka abawoza emisango gy’ebyokulonda, okuli Erias Luyimbaazi Nalukoola, Richard Lumu ne Samuel Muyizzi, baagambye nti ensala y’akakiiko k’ebyokulonda si a nkomeredde, era bw’oba tomatidde ojulira mu Kkooti Enkulu. Bwe baabuuziddwa singa kkooti ewa ensala ng’okulonda kwaggwa dda, baagambye nti emisango gy’ebyokulonda kkooti zigiwulira mangu okwewala embeera eno, kyokka ensala ya Kkooti Enkulu mu mbeera eno ebeera ya nkomeredde.