OMUSUUBUZI eyawambibwa akabinja k’abazigu kimutwalidde emyaka 2 ng’anoonya ababba ebiwandiiko by’ennyumba ze.
Poliisi bano ezze ebalondolera ku ssimu zaabwe nga kyajitwalidde wiiki 2 okubasalako mu Bulenga mwebabadde bekukumye.
Kyeswa Alaumiriza Abakwate Okumutwalako Ebintu Bye.
Isaac Kyeswa omusuubuzi w’embaawo e Bulenga abazigu bano, ng’ali ne poliisi, yabakwatidde Bulenga mu kafo akamu akagambibwa okuba nti we basula nga bavudde e Mityana gye balukira ddiiru zaabwe.
Abaakwatiddwa kuliko Meddie Settimba, Yahaya Sserwadda, Ken Kalyango ne David Kalule. Baatwaliddwa ku poliisi y’e Bulenga wabula oluvannyuma yabongeddeyo ku y’e Wakiso. Omusango guli ku ffayiro nnamba SD REF 67/22/09/22.
Kyeswa Ng'alaga Kkalina Gy'azimba E Bukasa Mu Wakiso Abakwate Gye Baamutwalako.12
Kyeswa agamba nti mu 2022, yali ku kibanda mukyala we n’amukubira essimu nti kitaawe amuyita alina gy’ayagala amutwaleko ne muwala we babalombere ku dduwa.
Kyokka nti ono we yatuukawo, baamuteeka mu mmotoka ekika kya Mark II Grande ne bamulijja emiguwa ssaako okumusiba emiguwa olwo ne bamuvuga ne bagenda mu kifo ky’ataamanya.
“Bantuusa mu kifo kye saamanya ne bampa ebiwandiiko nteekeko emikono era ne bantunuzaamu emmundu nange olw’okutaasa obulamu ne nteekako emikono kye saamanya nti byali bitwala wantu wange.” Kyeswa bwe yategeezezza.
Amaka Ga Kyeswa Agasangibwa E Bukasa Buloba G'agamba Ge Bamutwalako.
Abafere baaluka ddiiru ne mukyala wange
Kyeswa yategeezezza nti agenda okutuuka mu kifo we baamuyita, mukyala we akozesa amannya abiri okuli Shamirah Nandawula ne Joan Nabyonga yeekobaana ne Settimba nga gw’ayita kitaawe.
Yagambye nti mu kumuwamba ekyewuunyisa mukyala we yaliwo kyokka nti teyasobla wadde okukuba enduulu oba okuddukira ku poliisi okuwaaba omusango wabula okutunula obutunuzi.
Yalombozze ebigala by’emmundu bye baamukuba nga bamutaddeko n’empingu nti era baamukasuka wansi w’entebe okutuusa lwe baamugonza ne bamusaba okubakolera ku by’ayagala.
Mukyala Wa Kyeswa Gw'alumiriza Okwekobaana N'abafere.
Yayongeddeko nti olw’okuba nti mukyala we yali azaalibwa Mityana, mu kudda okubuuza mukyala we, yamulangira nga bwe yatunda ebintu ne nnyina (owa Kyeswa) nti era takyalina kakwate ku bintu byonna nti era ye takyali mukyala we.
Kyeswa yagambye nti yazimba amaka e Bukasa mu Wakiso mwe yawasiza mukyala we gwe yakima mu butongole e Mityana mu 2018 kyokka yagambye nti amaka gano nti gaamuggyibwako era asula mu muzigo.
Yayongeddeko nti abaakwate balina munnaabwe ayitibwa Rashid Ssemakula agamba nti amaka n’ekizimbe kya bisinzensi ekiri e Bukasa ssaako ennyumba z’abapangisa eziri e Gayaza nti Kyeswa tabirinaako kakwate era byonna baabimugobamu.
Kyeswa yakitadde ku mukyala we gw’agamba nti ebiwandiiko byonna ye yabiwa abasajja be yali nabo mu mupango nti era kati be balina obwannannyini ku bintu byonna.
Ensonda ku poliisi e Wakiso zaategeezezza nti bali mu kuyigga Ssemakula ssaako okubuuliriza ennyo ebyagwawo okulaba nga bavaayo ne ffayiro ejjudde enaatwalibwa ew’omuwaabi wa Gavumenti.