Engeri gye weerinda endwadde ezibalukawo

EMBEERA y’obuddebw’ekyuuse n’endwadde nnyingi ezibalukawo naddalamu bifo eby’omugotteko.Kino kyetaagisa abantu okusomesebwa n’okumanyisibwa engeri y’okuzeerinda n’okwekuuma ate n’obujjanjabi singa zibakwata.

Musawo Kemirembe bwe yali agema abantu obulwadde bwa Mpox mu katale k’e Nakasero.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EMBEERA y’obuddebw’ekyuuse n’endwadde nnyingi ezibalukawo naddala
mu bifo eby’omugotteko.Kino kyetaagisa abantu okusomesebwa n’okumanyisibwa engeri y’okuzeerinda n’okwekuuma ate n’obujjanjabi singa zibakwata.
Maria Gorretti Kemirembe,omusawo ku ddwaaliro lya Vine Medical Center mu
Kampala annyonnyola nti:
1 Omusujja gw’ensiri bwe bumu ku bulwadde obusinga obulungi kitegeeza kuba ng’olabirira bulungi obwongo n’omubiri gwo.
Obwongo bubeera bukola buli kaseera, ne bw’oba weebase, busigala bukwataganya okulowooza kwo, entambula y’ebitundu by’omubiri gwo ebitali  bimu, okukuba, kw’omutima gwo n’okussa.
Wabula obwongo businga  kukola ng’olidde ebintu eby’omutindo ebirimu ebiriisa naddala Vitamiini ez’enjawulo, eminnyo egy’enjawulo n’ebirungo ebikuuma obuto aali bw’omubiri  obutali bumu obutatuusibwako buvune.
Singa oyitiriza okulya emmereetesaanidda ng’eyo eyisibwa mu byuma, ng’akawunga
akafuuyibwako akakuta, emigaati, omuceere omweru n’ebirala ebibeeramu sukaali omungi,  okosa obwongo. Emmere gyetulya ebeera erina okutawaanya abantu mu biseera by’enkuba kubanga ensiri zaalula nnyo. Kikwetaagisa okukuuma   awaka wo n’ebikwetoolodde nga tewali nsiko, bintu biregamamu mazzi wadde emyala kuba bino
bitereka ensiri.
2 Amadirisa gaggalewo mangu:Essaawa tezandiweze 12: 30 ez’akawungeezi ng’amadirisa g’ennyumba yo gakyali maggule kuba gayingiza ensiri.
3 Kozesa ebintu ebizigoba eby’obutonde n’eddagala erifuuyirwa erizitta. 4 Bw’owulira nga teweewulira bulungi genda weekebeze ofune obujjanjabi nga bukyali. 3 Omusujja gw’omu byenda  gweyongera mu biseera  by’enkuba olwa kazambi
naddala ayitira mu mazzi.
 Okugwewala, yonja ebintu n’amazzi amayonjo ge weekakasa.  Tonywa mazzi gatali mafumbe kuba gatambuza obuwuka bungi obulwaza omusujja gw’omu byenda. Okusomesebwa okufaanana bwekutyo kwe kulina okukolebwa ne mu mbeera nga waliwo endwadde enkambwe ezirumbye eggwanga gamba nga kkolera, Ebola, Mpox n’endala ezigwa mu kkowe eryo Bannayuganda ne bamanya  ebizikwatako n’engeri gye bayinza okuzeewala.