MU kaweefube wa Gavumenti ow’okwongera ku bungi bw’emmwaanyi ezigenda ku katale k’ensi yonna, ekitundu kya Buganda kiteereddwaako amaanyi okuyita mu nteekateeka ez’enjawulo ezivuddemu ebibala.
Kaweefube ono aleetedde ekitundu kya Buganda okubeera nga ky’ekisinga okulima emmwaanyi mu Uganda, ng’ebitundu 40 ku 100 eby’emmwaanyi ezigenda ku katale k’ensi yonna, biva mu Buganda yokka.
Mu kutumbula okulima emmwaanyi mu Buganda, Gavumenti yakwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda mu nteekateeka ya ‘Mmwaanyi Terimba’ okwongera ggiya mu kaweefube w’okuggya abantu mu bwavu okuyita mu kulima emmwaanyi.
Pulezidenti Museveni wiiki ewedde bwe yabadde e Butambala yalaze essanyu olw’abantu mu kitundu kya Buganda okuzuukuka ne beenyigira mu kulima emmwaanyi, n’agamba nti, bw’abadde atalaaga ebitundu okuli; Bukomansimbi, Kalungu, Masaka, Kyotera, Rakai, Lyantonde, Lwengo, Ssembabule, Butambala n’e Mpigi alabye ennimiro z’emmwaanyi ez’amaanyi ate nga zirabika bulungi ekiraga nti, abantu abasinga bawuliriza omulanga gwe bulungi.
ENKWATAGANA N’OBWAKABAKA BWA BUGANDA
EMMWAANYI TERIMBA ESITUDDE EBYENFUNA
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga agamba nti, ‘Emmwaanyi Terimba’ eyambye nnyo okusitula ebyenfuna mu maka g’abantu ba Buganda, era azze akubiriza abantu ba Buganda okwongera okulima emmwaanyi kubanga tekikoma kuba kirime wabula ly’ekkubo erigenda okutuusa abantu ba Kabaka mu kwefuga mu byenfuna.
Mu June wa 2024, ku mwoleso gw’ebyobulimi ogwali e Bulemeezi, akulira ebyensimbi mu maka g’Obwapulezidenti, Jane Barekye yawaayo obukadde 413 okuva ewa Pulezidenti Museveni, zongere okuyamba Obwakabaka okutumbula ekirime ky’emmwaanyi. Mu kaweefube ow’okwongera okukoleeza oluyiira lw’okulima emmwaanyi, Mayiga azze akyala mu Masaza ga Buganda ag’enjawulo, ng’asisinkana abalimi b’emmwaanyi abaaweebwa endokwa okuyita mu Mmwaanyi Terimba ne bazirabirira bulungi ne batandika okuzifunamu. Mu kukyala kuno mw’ayita okuzzaamu abantu ba Buganda amaanyi, n’okusaasaanya amagezi abalimi ab’enjawulo ge bakozesa, eri abantu ba Buganda abalala, okuyita ku mikutu gy’amawulire
ENTEEKATEEKA Z’OKULWANYISA OBWAVU
Gavumenti ng’eyita mu nteekateeka z’okulwanyisa obwavu omuli ‘Bonna bagaggawale’, (Operation Wealth Creation), ne ssente z’oku miruka eza PDM, eyongedde okuwagira enteekateeka z’okulima emmwaanyi.