Endya ennungi gy'olina okugoberera okulwanyisa olukunsense

ENDWADDE nnamutta ezigemebwa ensangi zino zeeyongerako okuva ku 6 nga kati ziri mu 13. Olukusense y’emu ku ndwadde zino ate nga lusaasaana mangu mu mpewo era lusobola okutta omwana bw’atajjanjabwa bulungi ate mu bwangu.

Omukyala ng’ateekateeka omubisi gw’ebibala, guno mulungi ku mwana alwadde olukusense.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ENDWADDE nnamutta ezigemebwa ensangi zino zeeyongerako okuva ku 6 nga kati ziri mu 13. Olukusense y’emu ku ndwadde zino ate nga lusaasaana mangu mu mpewo era lusobola okutta omwana bw’atajjanjabwa bulungi ate mu bwangu.
Peace Nambuusi, omusawo w’abaana mu ddwaaliro e Mulago annyonnyola nti, olukusense luleetebwa obuwuka obusirikitu obw’ekika kya vayiraasi nga lusinga kutigomya baana naddala abali wansi w’emyaka 5.
Abalala abali mu matigga g’okukwatinwa olukusense mulimu:
l Abaana abataagemebwa lukusense.
l Abalina akawuka ka siriimu kuba abaserikale b’omubiri babeera banafu.
l Abakyala abazito, bano bo okusoomooza kuba omubiri guba gukendeezezza amaanyi g’obukuumi.
l Abamu ku baana abalya obubi ng’emmere gye balya tebeeramu biriisa omubiri bye gwetaaga.
l Abalwadde ba sukaali, kookolo, ensigo n’endwadde zonna endala ez’obulabe ezinafuya abaserikale abalwanyisa endwadde mu mubiri.
ENKWATA Y’OLUKUSENSE
Olukusense lukwatira mu mpewo, singa alulina akolola, ayasimula, anyiza, ng’assizza oba ng’ayogera n’ebirala awali abo abatakalina nabo ne bakayingiza.
Ate era ow’olukusense bw’akwata mu nnyindo ye n’akwata ne ku kisenge oba ekintu ekirala kyonna, omwana atalina kawuka kano n’akwatawo ate n’ateeka mu maaso, ennyindo, akamwa n’ebirala era asobola okukwatibwa.
Era omulwadde w’olukusense bw’ayogera oba n’ayasimula amalusu ge oba ekintu ekirala ekiva mu kamwa ne kisammukiraku nnyindo, akamwa oba mu maaso g’omwana omulala naye olukusense lumukwata.
Kitwala wakati wa wiiki emu n’ebbiri omubiri okulaga nga gulumbiddwa olukusense.
Omubiri guyiwa, wabula abeera yatandika dda okusiiga banne mu nnaku nga ssatu ku ttaano.
OBUBONERO BW’OLUKUSENSE OBULALA
1 Omwana akulukuta eminyira buli kadde.
2 Amaaso gamyukirira, okulunguula, okuzimba n’obulumi.
3 Amaaso galwala era gavaamu ebinyinyi oba okukulukuta amaziga.
4 Okukolola n’oguloboozi ogunene nga gwa maanyi.
5 Akamwa kasobola okubabuukirira n’okumyukirira.
6 Omwana asobola okufuna obutolobojjo obweruyeru ku bibuno mu kaseera nga yaakatandika okulaga obubonero. Wabula buno buvaawo ne bubula mu ssaawa 24.
7 N’emimiro nagyo gikosebwa ne girwala.
8 Ebbugumu ly’omubiri
Omukyala ng’ateekateeka omubisi gw’ebibala, guno mulungi ku mwana alwadde olukusense.
gw’omwana lirinnya era ayinza n’okwesika.
9 Vayiraasi y’olukusense esobola okugenda ku bwongo n’ebukosa nga omwana ayinza n’okwesika, oba okwogera ebitakwatagana.
10 Obwagazi bw’okulya emmere busobola okubula omwana. n’abeera awo nga tayagala kulya
11 Omwana asobola okutandika okussa obubi.
12 Omwana asobola okunafuwa n’aggwaamu amaanyi.
13 Omwana asobola n’okusesema oba okuddukana.
OKUGEMA OLUKUSENSE KIKULU
l Okulwanyisa olukusense kutandikira ku kugema baana nga bawezezza emyezi 9, ne kumwaka gumu n’ekitundu.
l Olukusense bwe lumukwata era n’abaana b’abaddeko nabo ennaku nga ssatu emabega nga tannayiwa ku lususu nabo baba balina okugemebwa, wano ne bwe wabaawo atannaweza myezi 9 kwe batandikira okugema era bamugema.
Wabula omwana gwe bagemye olukusense mu mbeera bw’eti nga tannaweza myezi mwenda, bw’agiweza era bamugema.
Omugema ddoozi esooka era n’afuna n’eyookubiri ku mwaka gumu n’ekitundu.
l Tekitegeeza nti, omwana gwe bagemye olukusense terumukwata,wabula bwe lumukwata tayisibwa bubi ng’omwana ataagemebwaBW’OLWANYISA OLUKUSENSE
l Okwawula abaana abalwadde mu batannalwala.
2 Teriiyo ddagala liwonya lukusense, wabula omwana bw’alwala abasawo bamuwa obujjanjabi okusinziira ku bubonero bw’alaze ku mubiri.
3 Abasawo era omwana bamuwa ebintu ebiyamba okwongera amaanyi mu baserikale b’omubiri ne balwanyisa olukusense.
OKULYA OBULUNGI KULWANYISA OLUKUSENSE
Omukugu mu by’endiisa, Precious Tukamushaba, agamba nti: okulya emmere erimu ebiriisa byonna ky’ekimu ku bintu ebikola omulimu mu kwongera amaanyi
mu baserikale b’omubiri ne kisobozesa omubiri okulwanyisa endwadde awatali ddagala. Alaze ebyokulya by’oba wettanira nga omwana alwadde olukusense:
1 Obusera, buno bwe bumu ku bimuyamba okukuuma omubiri gwe nga gulina amazzi
agagumala.
2 Amata galimu ekiriisa ekizimba omubiri.
3 Mukene, enkejje n’ebyennyanja biyamba okuwa omubiri amaanyi ne gulwanyisa
akawuka akaleeta olukusense.
4 Kaloti, zino ziyamba ne ku maaso.
5 Ennyaanya nga wano kirungi nnyo okugisalaasalamu obutundu omwana n’abulya nga bubisi
6 Amagi galimu ekiriisa ekizimba omubiri.
7 Enva endiirwa nga sipinaki, nnakati, doodo, ensugga, emboga naddala emmyuufu, n’ebirala.
Enva zino kirungi kuziserulira ku mmere oba okuzitokosaako akatono awatali kukozesa butto kuba atta ekiriisa. 8 Ebibala nga wootameroni, emicungwa, obutunda, emiyembe n’ebirala byonna biyamba okukuuma omubiri nga gulimu amazzi n’okuguwa amaanyi ne gulwanyisa endwadde.