EKITONGOLE ky'amakomera mu ggwanga, kirabudde abantu abaliko obulemu ku mibiri obuteeyibaala nti kuba , basobolera ddala okubakuumiirayo nga babayamba wekiba kyetaagisa.
Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera, Frank Baine, ategeezezza nti , entegeka zonna weziri okuyamba abantu ab'ekikula eky'enjawulo nga bazizza emisango, ne bababatwalira.

Ivan Birungi, Muzibe Gwe Baakalize Emyaka 7 Mu Nkomyo
Kidiridde, omulamuzi wa kkooti e Mukono, okukaliga Muzibe Ivan Birungi omutuuze ku kyalo Kasaba East e Bubende, ku kibonerezo kya kusibwa emyaka 7 mu kkomera , bwe yasingisiddwa omusango gw'okusobya ku mwana ow'emyaka 15 wiiki ewedde.
Kino, kyaleseewo okwebuuza mu bantu ab'enjawulo ku ngeri muzibe ono, gy'agenda okutambuzaamu ekibonerezo kye , ng'ali mu kkomera ng'ate talaba.
Omusibe y'ennyini, naye yalajanidde omulamuzi , ng'agamba nti buli ky'akola , alina kuyambibwako abantu abalala, ne yebuuza engeri gy'agenda okubeera mu nkomyo yekka.
Baine, atangaazizza nti , abantu bwe babati, babakolera entegeka ey'enjawulo ebayambako nga bali mu bifo ebyo, era n'alabula abalala, obuteyibaala.