Amawulire

Eby'omusango gwa Paasita Bujjingo okugattululwa ne Teddy Naluswa bijulidde March

OMUSANGO gw’okugattulula Paasita Aloysius Bujjingo owa House of prayer ministries ne mukyala we eyasooka Teddy Naluswa Bujjingo bijulidde mwezi gwa March.

Eby'omusango gwa Paasita Bujjingo okugattululwa ne Teddy Naluswa bijulidde March
By: Alice Namutebi, Journalist @New Vision

Omusango gubadde gwakuddamu okuwulirwa leero ku kkooti Enkulu ey’amaka e Makindye mu maaso g’omulamuzi Joseph Murangira naye omulamuzi tabaddewo ne babalagira okukomawo mu kkooti nga March 4, 2022.

Bujjingo ne Teddy bombi babadde bazze ku kkooti naye bwe bategedde nti omusango gwabwe tegugenda kugenda mu maaso buli omu tatawaanye kuva mu mmotoka ne baddayo.

Bujjingo yaggulawo omusango nga ayagala bagattululwe ne Naluswa asobole okwetaaya obulungi ne Susan Makula Nantaba gwe yatandika okuganza ng’akyali mu bufumbo ne Teddy.

Alumiriza Naluswa okumuyisaamu amaaso mu bantu n’okumutulugunya mu ngeri ezenjawulo ng'eno y’ensonga enkulu kw'asinzira okusaba bagattululwe kubanga takyamwagala.

Naluswa eky’okumugattulula ne Bujjingo akiwakanya ng'agamba nti yadde nga Makula yabayingirira, singa Bujjingo amwesonyiwa obufumbo bwabwe bujja kuddawo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Bujjingo
Makula
Teddy