SIPEEYA w’emmotoka abalirirwamu obukadde n’obukadde bwa ssente atokomokedde mu nnabbambula w’omuliro akutte amaduuka ewa Kisekka.
Byaggyiridde ku kizimbe ekipya ekya Original Spare Center mu maduuka agasangibwa mu basementi nga gwatandise ssaawa 6.00 ez’emisana ku Lwokuna ne gwokya obuyamba obusukka mu buna nga mu bumu emmaali yaggwereddewo ddala nga tewali kye baataasizza.
Akola mu dduuka omuliro mwe gwatandikide Viyazi Zaake yagambye nti yafunye essimu n’afuluma kyokka edduuka lino omwabadde woyiro ne sipeeya n’aleka ng’alisibye ng’ataddeko ne kkufulu.
Kigambibwa nti yaleseekyuma mu masannyalaze ekiteeberezebwa okuba nti
Rayan Yiga omu ku baazikizza omuliro yagambye nti baabadde batudde okumpi n’edduuka eryo, baagenze okulaba nga muvaamu omukka kyokka nga lisibe.
Olw’okuba woyiro ye yabadde akutte omuliro, gwatandise okwaka ku misinde emiyitirivu.Omuliro gwatandise okusaasana ne gukwata n’amaduuka amalala asatu agaliranyeewo era Yiga yayise banne ne batandika okuguzikiza kyokka nga teguzikira olw’okuba gwabadde gusibuka munda ate nga wasibe.
Ayogerera ekizimbe okwabadde omuliro Simon Peter Lubwama yagambye nti basuubira nti omuliro gwavudde ku woyiro omugattirire gwe bakolera ku kizimbe ekyo era poliisi ezze ebakwata enfunda eziwerako naye omuze baagulemerako.
Yagasseeko nti mulimu abalina omuze okuddira woyiro omukadde ne babaako bye bamugattamu n’abeera ng’omupya era ne bamussa ku katale kyokka kirabika ng’ekimu ku kirungo kye bakozesa okukola woyiro ono nga kikwata mangu omuliro nga
kirabika kye kyavuddeko kalumanywera.
Yannyonyodde nti n’ebizimbe ebibalilanye nga Shamba arcade bizze by’okebwa omuliro mu ngeri yeemu era ng’ekizibu kiva ku babikoleramu.