Bya Patrick Kibirango
OMUWALA kiggala ayanjudde omulenzi we naye nga kiggala mu maka g’abakadde be ku mukolo mawuuno ne bayuguumya ekyalo.
Wilberforce Ssentubwe 33 ye yanjuddwa munne Racheal Nanfuka 27 mu maka g’abazadde be, Mw. Francis Jingo n’omukyala Nulu Nanyanzi Nkumba Kasenyi mu mukono ogwabaddeko nnamungi w’omuntu ayazze okwerabira ku mukolo guno ogw’ebyafaayo.
Bano baasisinkanira ku ssomero ly' abatawulira erya Ntinda School of Deaf mu 2016 era nga kati balina abaana basatu.
Omukolo gubadde gwa kitiibwa era wadde abagole bonna ttebawulira era teboogera kyokka baacamudde abagwetabyeko engeri obwedda gye batemamu ddansi nga bagoberera omudigido gw'enyimba n’okusinga abo abaziwulira.
Ssenga Ng'agabula Omuko Oluwombo Nga Bw'amukolera Obubonero.
Abamu Ku Beetabye Ku Mukolo.
Abagole Bakiggala Nga Bakoona Ddansi
Abagole Nga Basanyufu
Ebintu Bya Buganda Ebyatwaliddwa Ku Mukolo. Ku Ddyo Ye Geoffrey Kulubya.
Beraze amapenzi mu kidaala era obwedda bagira ne beekuba obuuso obw’omukwano n’okweweereza obugambo nga bwe gubeera ku mikolo gya boogera nga buno obwedda babweerereza mu bubonero.
Aboogezi bakoze buli ekikolebwa ku mikolo gy'abataliiko bulemu ng’abagole bwe bagoberera okuyita mu bavvuunuzi ababaddewo.
Obutafaananako ng’emikolo emirala abagenyi ababadde ku mukolo guno abakozesa obubonero baasinze aboogera obungi.
Abagole batuuze b’e Kawaala mu Lubaga, nga Ssentubwe musiiizi wa langi n’okusiiga ebifaananyi ate Nanfuka alina edduuka mw'atundiira ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo e Kawaala.
Ssentubwe yagambye nti ekisinga okubagatta gwe mukwano ogwanamaddala buli omu gwalina eri munne wamu n’okwesiga Katonda.
Omuko yawerekeddwaako abakukunavu okubadde ayali omukungaanya wa Bukedde Geoffrey Kulubya, omwawule w’Omusumba bw'e Kawaala Dr. Kimanje n’abalala.
Era atonedde bazadde ba kabiite we ebirabo nkuyanja omudde; ttanka y'amazzi, entebe sofa, sukaali n’ebirala bingi.