Amawulire

DR. KIYINGI : Eyali pulezidenti owa America, mukulembeze wa Dubai, Australia ne bassereebu omuli Maria Carey be yajjanjaba bamukungubagidde

Aggrey Kiyingi ayongedde okulaga amaanyi mu kufa kwe, abakulembeze b'ensi ab'enjawulo ne bassereebu abali mu mutindo gw'ensi yonna bwe baweerezza ffamire ye mu Austrialia obubaka obumukungubagira n'okumutendereza ng'omukugu mu kujjanjaba emitima atajja kuzzikawo.

Dr. Kiyingi ne ffamire ye mu Australia gye buvuddeko. Ku ddyo bw'abadde afaanana.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Hannington Nkalubo, Ponsiano Nsimbi ne Meddie Musisi

Aggrey Kiyingi ayongedde okulaga amaanyi mu kufa kwe, abakulembeze b'ensi ab'enjawulo ne bassereebu abali mu mutindo gw'ensi yonna bwe baweerezza ffamire ye mu Austrialia obubaka obumukungubagira n'okumutendereza ng'omukugu mu kujjanjaba emitima atajja kuzzikawo.

Eyali Pulezidenti Wa America, Jimmy Carter

Eyali Pulezidenti Wa America, Jimmy Carter

Nnamwandu wa Kiyingi, Mayimuna Nakayiira Kiyingi ng'asinziira mu maka gaabwe mu kibuga Sydney ekya Australia yafulumizzaawo ekiwandiiko ekirala nga yeebaza abantu abayimiridde ne ffamire okuva amawulire ag'okufa kwa bba lwe gaasaasaanye.

Mu kiwandiiko kye, Nnamwandu Nakayiira yasengese amannya g'ebikonge by'ensi abaaweerezza obubaka n'abeesitudde ne batuuka mu maka ga Kiyingi omwabadde ne Katikkiro wa Australia, Anthony Norman albanese, bonna nga batendereza Dr. Kiyingi nti si mwangu wa kuzzaawo.

                           Omuyimbi Nnakinku Maria Carey

Omuyimbi Nnakinku Maria Carey

Abaaweerezza obubaka kuliko: omukulembeze asinga obugagga mu nsi yonna, Sultan of Brunei, Bijodolo Hassanal Bolkiah ng'abalirirwamu obuwumbi bwa doola za America 30, yaweerezza obubaka aba ffamire ya Dr. Kiyingi obulaga omukwano n'engeri ensi gy'emufiiriddwa. Yasaasidde aba ffamire n'abasaba okuba abagumu mu kaseera kano aka kazigizigi nga Kiyingi abavudde ku maaso.

Jimmy Carter eyali pulezidenti wa America owa 39 okuva mu 1977 okutuuka mu 1981 naye yaweerezza obubaka obukungubagira Kiyingi. Ffamire eno ebadde emanyi Dr. Kiyingi era nga yajjanjaba Carter kati ow'emyaka 99. Dr. Kiyingi abadde omusawo ow'amaanyi ennyo era ow'omugaso ayimirizzaawo obulamu bw'abantu bangi ng'abajjanjaba endwadde z'emitima.

                      Hassanal Bblkiah Ibni  Omar Ali Saifuddien Iii, Sultan Wa Brune

Hassanal Bblkiah Ibni Omar Ali Saifuddien Iii, Sultan Wa Brune

Nnaggagga Sheikh Mohammed , omu ku balina ebizimbe ebinene ne kkampuni ez'amaanyi e Dubai naye yaweerezza obubaka obusaasira ffamire nti abadde wa njawulo, Katonda gwe yawa ekitone ky'okumanya n'okujjanjaba obulwadde bw'omutima.

Katikkiro Wa Autralia, Anthony Albanese

Katikkiro Wa Autralia, Anthony Albanese

Omuyimbi w'e Bungereza nnakinku ow'erinnya, Sir Elton John n'omuyimbi w'omu America, Mariah Carey nabo baaweerezza obubaka obusaasira ffamire ya Dr. kiyingi olw'engeri gy'abadde ow'omugaso eri ffamire z'abantu ab'enjawulo okwetooloola ensi yonna.

Obubaka obwedda buweebwa nnamwandu Mayimuna Nakayiira Kiyingi, ekiseera kino ali e Sydney ekya Australia omugenzi gye yafiiridde wiiki ewedde.

 

Abaffamire ya Robinah Kiyingi bakyakukkuluma

Kyokka wadde waliwo abakaabira emmaali ya Dr. Kiyingi era n'abamukaabira mu kufa, bo aba ffamire ya Robinah Kiyingi n'okutuusa kati bakyakukkuluma nga bagamba nti tebaafuna bwenkanya era bakyalowooza nti yalina (Dr. Kiyingi) omukono mu kufa
kw'omuntu waabwe.

Bagamba nti oluvannyuma lwa kkooti ekwejjeereza Kiyingi, Gavumenti, okufaananako n'abenju ya Robinah, yalaga nti tematidde na nsala era n'esuubiza okujulira, 
ekitaakolebwa era balowooza nti singa kyakolebwa osanga bandifunye obwenkanya.

Kinajjukirwa nti Robinah Kiyingi, yatemulwa mu bukambwe obutagambika
bwe yakubwa amasasi ku ggeeti y'amaka gaabwe e Buziga mu Kampala mu 2005.

Tags:
Kiyingi
yajjanjaba
bamukungubagidde
nsi yonna