ABANTU babiri bafiiriddewo n'abalala babiri ne bapooca n’ebisago ku ddwaliro e Kasana oluvannyuma lwa lukululana ebadde ku misinde okukutukako ekyana n'eyingirira enju mwe babadde.

EKyana ekyayingidde ennyumba
Bino bibaddewo ku ssaawa 11:00 nga bukya olwaleero ku kyalo Ngogolo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Lukululana nnamba SSD 908 A n'ekyana kyayo SSD 909 A bye biyingiridde ennyumba.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti abafudde kuliko, Annet Nandyose 38 ne muwala we Doreen Nakkazi 3 ate abafunye ebisago mulimu Ssemaka Samuel Kiggwe n'omwana Jovan Kalule .

Engeri ekyana kya ttuleera gye kyayingiridde amaka
Twineamazima agambye nti lukululana yabadde eva Gulu okudda e Kampala bwe yatuuse e Ngogolo ekyama kyayo ne kikutukako ne kisibira ku nnyumba ne kigiyingirira.
Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika e Kasana okugyekebejja nga bwe banoonyereza ate Lukululana esikiddwa n'etwalibwa ku poliisi e Luweero okugikebera.