Amawulire

CommissionEndwadde z’olina okukebeza omwana nga tonnamuzza ku ssomero

AMASOMERO mangi gawa abazadde ffoomu ez’okutwala mu malwaliro bakeberereko abaana endwadde ez’enjawulo nga tebannabazza ku masomero, wabula abamu kye bakola kwe kusasulayo abasawo akasente akatonotono ne babajjuliza nga balaga nti, abaana balamu kyokka bwe batuuka ku ssomero ne balwala olwo omusango ne baguzza ku basomesa.

Omusawo ng’apima omwana.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

AMASOMERO mangi gawa abazadde ffoomu ez’okutwala mu malwaliro bakeberereko abaana endwadde ez’enjawulo nga tebannabazza ku masomero, wabula abamu kye bakola kwe kusasulayo abasawo akasente akatonotono ne babajjuliza nga balaga nti, abaana balamu kyokka bwe batuuka ku ssomero ne balwala olwo omusango ne baguzza ku basomesa.
Kirungi omuzadde okumanya lwaki osaana okukebeza omwana wo endwadde ez’enjawulo nga tonnamuzza ku ssomero okwewala obuzibu obuyinza okumutuukako ng’omututte endwadde n’esajjukira eyo. Abasawo batulaga endwadde ezisaanye okukebezebwa omwana nga tannadda ku ssomero:
Dr. Emmanuel Okodoi Oguti, omukugu mu kujjanjaba endwadde ez’enjawulo ku ddwaaliro lya John William Kiggundu International Hospital e Kakiri, agamba nti, abazadde baandibadde basaale okulaba ng’abaana baabwe bakeberwa endwadde ez’enjawulo kibayambe okubajjanjaba obulungi n’okubakuuma nga balamu okusobola okumalako olusoma nga tebatawaanyizibwa ndwadde.
Dr. Okodoi agamba nti, ennaku zino endwadde nnyingi mu baana naddala ezisobola okulabwa amangu ne zijjanjabwa.
ENDWADDE Z’OLINA OKUKEBEZA OMWANA
Dr. Kenneth Muwanguzi, omukugu mu kujjanjaba endwadde z’abaana ez’enjawulo okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mulago nga ye yakulembeddemu okukebera abaana endwadde mu lusiisiira olwategekeddwa ab’eddwaaliro lya John William Kiggundu International Hospital e Kakiri agamba nti, emirundi egisinga abazadde tebawa mwagaanya baana bavubuseemu kutwalibwa kukeberwa ndwadde nga tebannaba kudda ku masomero. Annyonnyola nti;
l Abaana n’addala abawala abatandika okugenda mu nsonga z’ekikyala emirundi egisinga tebafuna kumanyisibwa kwa njawulo ku ngeri y’okwekuumamu nga batuuse mu kiseera ekyo, era n’ategeeza nga bwe kyandibadde eky’ensonga okutwala abaana okubakebeza yinfekisoni wamu n’okusomesebwa ku ngeri y’okwekuuma nga bayonjo okugoba endwadde.
l Abazadde bandibaddebatwala abaana ne bakeberebwa endwadde z’ensusu kuba ebiseera ebisinga abaana abo bwe batuuka ku masomero bawaanyisa engoye ekivaamu omwana okukwatibwa endwadde omuli oluwumu, ebiguuna, n’endala ezigwa mu kkowe eryo.
l Abaana abalala n’addala abavubuka abasinga beetaaga kutwala mu bakugu okubudaabudibwa kuba bangi bayiga emize okuva ku bannaabwe ekibeeraliikiriza olw’embeera gy’aba ayitamu ekivaamu nga bayiga okunywa enjaga ate abawala okufuna embuto nga bakyali bato.
l Buli mwana aweza emyaka 10 nga muwala kisaana okumukebeza olubuto, naddala abo ababeera batandise okugenda mu nsonga z’ekikyala.
l Omwana mukebeze obulwadde bw’akafuba olw’okuba emirundi egisinga abaana babeera mu bantu ab’enjawulo ate ng’obulwadde buno bukwatira mu mpewo naddala ng’abulina ayasimudde oba okusammula amalusu ng’ayogera ne gatuuka ku oyo atalina.
l Mu baana naddala abavubuse kisaanye obakebezene ku kawuka ka siriimu.
l Obulwadde bwa ssukaali ensangi zino nabwo bweriisa nkuuli mu baana era kisaanye nabwo obumukebeze nga bukyali.
l Ye Dr. Emmanuel Okodoi Oguti, agamba nti, endwadde ezisinga okutawaanya abaana gwe musujja gw’ensiri ate nga buno bwe bumu ku bulwadde obuteekweka era nga bwangu okuzuula ng’omwana bamukebedde.
l Omwana mukebeze obulwadde bw’omusujja gw’omu byenda nga buno buva mu kulya bintu bicaafu n’addala amazzi agatali mafumbe.
l Omwana mukebeze obulwadde bwa alusa kuba ennaku zino ziyitiridde mu baana abato ate nga ebizireeta biva ku byakuya abazadde bye bagulira abaana naddala eyo ebitundibwa ku makubo okuva akawuka akaleeta alusa ezitawaanya abaana.
l Omwana mukebeze amaaso n’amannyo waakiri omulundi gumu oluvannyuma lw’emyezi mukaaga oba waakiri mu mwaka ayambibwe bw’abeera n’obuzibu bwonna obutataataaganyizibwa ng’asoma.

TEMUKWEKA NDWADDE Z’ABAANA
Dr. Muwanguzi akubiriza abazadde okubeera ab’amazima eri abasawo okubategeeza ku bulwadde okusumbuwa abaana kiyambeko mu kulaba engeri omwana gy’ayinza okufuna obujjanjabi awatali kutaataaganyizibwa mu misomo gyabwe.
Abo abazaalira mu bamulerwa b’oku byalo, bandifubye okulaba nga batwala abaana okugemebwa obuyiso bwe bataafuna nga baakazaalibwa naddala ak’akafuba kuba weesanga ng’omwana atakafuna afuna obuzibu bw’okulumbibwa obulwadde obwo.
Dr. Muwanguzi agamba nti, abazadde abalina abaana abatawaanyizibwa endwadde eziva mu kulya obubi omwana n’atuuka okukonziba bandibadde banoonya abasawo abakugu mu byendiisa y’abaana ne bafuna okusomesewa.
Waliwo amasomero agamu agalina enteekateeka y’okukebeza abaana nga baakaddayo mu masomero, ekyo kirungi kuba kiyambako okumanya omuwendo gw’abo abalwadde n’abo abalamu.
Mu lusiisira luno, abazadde baaleese abaana baabwe okukeberebwa endwadde ez’enjawulo wamu n’okwebuuza ku bizibu ebibatawaanya, okubasomesa ku ngeri y’okubalabiriramu, endya entuufu abaana gye balina okugoberera n’okumanya emmere entuufu gye balina okutegekera abaana nga bagenda ku ssommero, byonna ku bwereere.
Ekigendererwa ky’olusiisira kyabadde kya kulaba bazadde nga bazza abaana abalamu ku masomero basome bulungi awatali kutaataaganyizibwa

Tags: