Bya John Bosco Kiyingi
MU kitabo Ekitukuvu Bayibuli (Luberyeberye 11:1–9) Abababirooni baayagala okwegulumiza babeere n’ekibuga ekirina omunaala ogutuuka mu Ggulu ewa Katonda nga bakolagana naye butereevu!
Baasalawo okuzimba omunaala bagweyambise okumutuukako. Wabula kitutegeeza nti, nga bazimbyeko ekiwera, Katonda yatandika okubatabula wadde abazimbi n’abaweereza baali boogera olulimi lwe lumu.

Ebyewuunyisa
Ekiseera kyatuuka nga bye boogera tebikwatagana. Gwe baatumanga omusenyu aleeta nsuluulu ate ow’amazzi adda na nnyondo okukkakkana ng’omunaala gwe Babbeeri gubalemye okumaliriza nga bayomba buyombi.
Abo baazimba badda waggulu nga banoonya Katonda. Wabula China esazeewo okusima ensi etuuke ku ntobo yaayo egibotole egende mu maaso n’okumanya ebyama kwe tutudde!
Pulojekiti eno yatongozeddwa ku Lwokubiri mu ddungu lya Tarim e Xinjiang mu bukiikaddyo bwa China. Ekituli kino kye basima basuubirwa oyita mu myaliiro okuli egy’ettaka, omusenyu amayinja, amazzi n’omuliro egisoba ensi eno kw’etudde.
Pulojekiti yakwasiddwa kkampuni ya Gavumenti ya China ensimi y’amafuta eya National Petroleum Corporation era yategeezezza nti, basuubira okumaliriza omulimu guno mu nnaku 457 nga basima emisana n’ekiro.
Ebyuma ebiweza ttani 2,000 bye bitegekeddwa okukola omulimu guno. Omwaka oguwedde, Pulezidenti wa China, Xi Jinping yalagira bannasaayaansi mu ggwanga lino okukola okunoonyereza okwawukanako n’amawanga amalala mu bwengula n’entobo y’ensi.
Ekigendererwa ekirala kwe kumanya emyaka ensi eno gye yaakabeerawo nga basoma ku bye bagenda okuggyayo.

Ogusolo Oguyitibwa Yak.
EBYATUUKA KU RUSSIA
China si y’ensi esoose okusima ettaka okutuuka ku ntobo y’ensi oba okugikubamu ekituli.
Russia yasima ekituli ekiyitibwa Kola Superdeep Borehole nga yakoma mu mmita 12,262 (ze ffuuti 40,229 n’obutundu 6) mu bwanjuba bwayo naye kigambibwa nti baatuuka ekiseera nga bawulira ebiwowoola ne basoberwa era omulimu ne baguyimiriza mu 1995 nga baamala emyaka 20 nga basima.
Ekimu kye baazuula, mu buwanvu bwa mayiro nnya baasangayo amagumba n’obuwuka obusirikitu obutasobola kulabibwa na maaso nga gye buli eyo bwegiriisa.
Mu kiseera kino Russia y’ebadde ne lokodi y’okubeera n’ekinnya ekisimiddwa abantu ekisinga obuwanvu mu nsi yonna.
BABALABUDDE
Bannasaayaansi balabudde China obutazaalira nsi kabaate nti, wayinza okubaayo obuwuka obw’obulabe obuli eyo obuyinza okuyitira mu kituli kino ne bulumba abantu ne batandika okukunkumuka.
Kino kyaliwo mu bitundu bya Siberia mu Russia ebbugumu ly’ensi bwe lyeyongera omuzira ne gusanuuka nnyo, obuwuka ekika kya ‘virus’ obwali bwannyogozebwa okumala emyaka 450,000 ne buzuukusibwa okukkakkana nga bulumbye amagana g’ekika ky’ebisolo ebiyitibwa ‘yak’ bibeera eyo mu muzira ne bubitta.
Ekika ky’obuwuka kino kyatuumibwa ‘zombie virus.