Amawulire

'Busoga ebakaganye n'enteekateeka y'okufumbiranga abayizi ba UPE obuugi bwa soya'

MINISTA avunaanyizibwa ku nsonga z'amawanga g'Obuvanjuba bwa Afrika ate era nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kamuli, Rebecca Alitwala Kadaga ategeezezza nti e Busoga baatandise ku nteekateeka ey'okufumbiranga abayizi mu masomero ga bonna basome aga Pulayimale obuugi bwa 'soya' n'ekigendererwa eky'okulaba nti abayizi tebasiiba njala so nga ate era balya ebyo ebirimu ekiriisa .

Minisita Rebecca Kadaga, aba Gain- Uganda abalina emirandira ne World Food Program n'abamu ku babaka ba Palamenti abeetabye mu musomo gw'ebyemmere n'endiisa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISTA avunaanyizibwa ku nsonga z'amawanga g'Obuvanjuba bwa Afrika ate era nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kamuli, Rebecca Alitwala Kadaga ategeezezza nti e Busoga baatandise ku nteekateeka ey'okufumbiranga abayizi mu masomero ga bonna basome aga Pulayimale obuugi bwa 'soya' n'ekigendererwa eky'okulaba nti abayizi tebasiiba njala so nga ate era balya ebyo ebirimu ekiriisa .

Yategeezezza nti bbo we baasomeranga amasomero ga gavumenti gabeeranga n'enteekateeka engazi ey'okuliisa abayizi ebbago ne batasomera kumbuto nkalu nga ekintu kye kimu ky'asaba gavumenti esseeko essira ng'eyita mu kubaga amateeka agalambika endiisa y'abaana mu masomero.

Minisita Rebecca Kadaga n'omukungu wa Gain - Uganda, Damali Ssali

Minisita Rebecca Kadaga n'omukungu wa Gain - Uganda, Damali Ssali

Okwogera bino Kadaga abadde aggulawo omusomo gw'ababaka ba Palamenti ogukwatagana ku by'endiisa ogwategekeddwa ekibiina ky'obwannakyewa ekivunaanyizibwa ku by'endiisa ekya 'Gain - Uganda' nga omukolo guno gwayindidde mu Kampala.

Yasabye ababaka ba palamenti nti ebbago ly'etteeka ku mmere n'endiisa bweriddamu okuleetebwa ku lutuula lwa Palamenti baliwagire lisobole okuyisibwa okufuuka etteeka. 

Akiikirira ekibiina kya Gain mu Uganda, Damali Ssali yagambye nti olw'endya embi omuwendo gw'abaana abali wansi w'emyaka 5 abakonzibye gukyali waggulu, nga okunoonyereza okwakasembayo kwalaga nti bali ku bitundu 26%, so nga ate n'abaana abafaafaagana n'omugejjo nagwo omuwendo gweyongedde.

Wano weyasinzidde n'alaga obwetaavu bwa Palamenti eno ey'omulundi ogwa 12 okwanguyiriza mu kuyisa amateeka aganaalambika bannansi ku by'endya naddala okulya emmere erimu ebiriisa era ey'omugaso mu mubiri.

Omusomo guno ogw'ababaka ba Palamenti ku byendya gwakumala ebbanga lya nnaku 3 nga guyindira mu Kampala era nga okusinga gwetabiddwaamu abo ababaka abatuula ku kakiiko k'eby'emmere.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: