Bukedde FM eyanjudde agenda okukola pulogulaamu y'ekirya atabaala

BUKEDDE FM Embuutikizi ereese nannyini waaaka Sulaiman Kalule okwongera ku mpeereza eri abawuliriza.Sulaiman oba muyite kabaka wa waaka agenda kubanga akola pulogumu Ekirya Atabaala  buli lunaku okuva ku  Mmande okutuuka ku Lwokutaano ssaawa 9:00-11:00 ez'akawangezi era agenda kuba akola ne pulogulamu Bbaasi Dduniya ebeerawo buli Ssande ku ssaawa 3:00 ez’okumakya ng’amawulire gaakaggwa okutuuka ku ssaawa ttaano.

Sulaiman Kalule ayajuddwa okukola pulogulaamu y'ekirya atabaala
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

BUKEDDE FM Embuutikizi ereese nannyini waaaka Sulaiman Kalule okwongera ku mpeereza eri abawuliriza.

Sulaiman oba muyite kabaka wa waaka agenda kubanga akola pulogumu Ekirya Atabaala  buli lunaku okuva ku  Mmande okutuuka ku Lwokutaano ssaawa 9:00-11:00 ez'akawangezi era agenda kuba akola ne pulogulamu Bbaasi Dduniya ebeerawo buli Ssande ku ssaawa 3:00 ez’okumakya ng’amawulire gaakaggwa okutuuka ku ssaawa ttaano.

Ono yanjuddwa abakulira leediyo Bukedde Fm mu lukunga’ana lwa bannamawulire wano ku kitebe kyaffe mu Industrial Area mu Kampala wakati mu bbugumu. 

Ttiimu ya Bukedde fm ng'eyajula Sulaiman Kalule ku ofiisi za Bukedde mu Industrial area

Ttiimu ya Bukedde fm ng'eyajula Sulaiman Kalule ku ofiisi za Bukedde mu Industrial area

Kalule musomesa ate nga munnamawulire alina obumanyirivu mu kuweereza ku bikwata ku ntalo ng’ono akunyumiza ebiba mu ddwaniro n’owulira nga ddala naawe oli muddwaniro mwenyini kuno gattako okusunsulira ebyofuzi bya wano ne bweru.

Azze akkola ku leediyo eziwerako ng’ayambyeko ne mu kutandika ezimu era yategeezeza nti ddala aleese waaaka na'alaga essanyu olw'okweyunga ku leediyo esinga obunene Bukedde FM Embuutikizi.

Wakutandika okukola mu butongole ku Mmande ya wiiki ejja.

 Maneja wa Bukedde FM, Kabanda Yawe yagambye nti bakakasa nga Kalule ddala alina waaka era agenda kuwa abawuliriza ekijja mu budde baabwe obw’omuwendo bwe bawaayo .

Herbert Yawe Kabanda akulira ebiweerezebwa ku mpewo za Bukedde Fm ng'ayanjula Sulaiman Kalule eri abakozi ba Bukedde Fm

Herbert Yawe Kabanda akulira ebiweerezebwa ku mpewo za Bukedde Fm ng'ayanjula Sulaiman Kalule eri abakozi ba Bukedde Fm

Ronald Ssebutiko, avunanyizibwa ku mawulire ku Bukedde FM, yayozaayozezzza Kalule okwegatta ku ttiimu ennene era n'amusuubiza nti baakutambulira wamu naye.

Avananyizibwa ku birango ku leediyo za Vision Group Eddicah Tugaine, yategeezeza Kalule nti bamulinamu essuubi okwongera ku balanzi ku leediyo eno kubanga ddala kituufu alina waaaka.

Olukungana era lwetabiddwamu n’abakozi ba Bukedde FM abalala okwabade Farid Mpagi, Paul Mayinja, Omutaka Ssebwato, Godfrey Kigobero,Paul Lubwama ,Teera Kaaya n’abalala n’abalala.