Bya Basasi baffe
EYALI akulira essomero lya Mugwanya Preparatory School e Kabojja, bbulaaza eyawummula, Godfrey Lutaaya 61, akubye embaga makeke ekyayogeza Bannakampala obwama.
Yagattiddwa n’omusawo omutendeke, Dorothy Lutaaya ku kiggwa ky’Omujulizi St. Andrew Kaggwa e Munyonyo ku Lwomukaaga, ng’embaga yeetabiddwaako abasosodooti abasoba mu 10 n’ebikonge eby’enjawulo.
Oluvannyuma lw’okugattibwa, Balutaaya baasembezza abagenyi baabwe ku Serena Hotel mu Kampala ku mukolo ogwabadde ogw’ekitiibwa.
Omwami yabadde anekedde mu ssuuti enjeru erina ebiwujjo nga n’omugole omukyala anekedde mu kiteeteeyi ekyeru.
Lutaaya obuvubuka bwe bwonna abadde mu kibiina kya Brothers of Christian Instructions era mw’akaddiyidde. Amaze emyaka 16 nga yaakulira essomero lya Mugwanya Preparatory School, Kabojja, okutuusa lwe yawummudde mu 2022, era n’ava mu Bwabbulaaza.
Bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza nga bwe yawummudde obuweereza bw’obwabbulaaza era n’agattibwa mu bufumbo Obutukuvu n’omwagalwa we oluvannyuma lw’okugoberera emitendera gyonna.
Lutaaya N’omukyala Ku Mbaga Yaabwe.
KYE YAKOZE KIKKIRIZIBWA
Lutaaya si ye munnaddiini asoose okubuvuvaamu era n’afuna obufumnbo obutukuvu oluvannyuma lw’okuwummula obuweereza obwo.
Babbulaaza bakuba ebiragaano ebyenjawulo nga muno mulimu abakuba eby’emyaka n’eby’olubeerera. Atakubye kyalubeerera waddembe okubuvaamu w’aba asiimidde. Ategeeza ku bakama be bw’aba asiimye n’afuna obufumbo obutukuvu.
“Naweebwa ‘dispensastion’ nga luno lwe lukusa okukkiriza okukola ekyo ky’olina okukola ng’omaze kusaba,’’ Lutaaya bwe yategeezezza.
Kyakakasiddwa nti Lutaaya yagoberedde emitendera gyonna, olukusa olumukkiriza okuwasa yalufunye era yasoose kuyisibwa mu mitendera gyonna egikulembera okugattibwa ne munne y’ensonga lwaki embaga yaabwe teyabadde ya kyama era yasobodde okwetabwako baffaaza ne bannaddiini ab’enjawulo.
Lutaaya musajja muyimbi wa nnyimba za ddiini nnyo, era munnabyanjigiriza by’amazemu emyaka egisoba mu 20.
Ng’oggyeeko bannaddiini embaga eno yeetabiddwaako mikwano gye naddala abakulu b’amasomero.
Nga tanneegatta ku Mugwanya Preparatory, yasooka kubeera mukulu wa ssomero lya Kisubi Boys okumala emyaka etaano.
Mu 2018, Lutaaya yawangula engule y’omusomesa ow’enkizo mu mpaka ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group.
EKLEZIA ETANGAAZIZZA
Akulira ekkooti y’Eklezia n’okuluhhamya ku by’amateeka mu ssaza ekkulu erya Kampala, Rev. Fr. Dr. Andrew Kato, yannyonnyodde nti eky’obwa Bbulaaza kitiibwa ekiweebwa omuntu aba asazeewo okwewongera Omukuma kyokka era Eklezia ewa bannaddiini omukisa okusaba okuwummula oba okumenyawo endagaano gye baba bayingiddemu singa babeera bagoberedde emitendera.
Agamba nti endagaano bannaddiini ze bakuba zaawukana; abamu bakuba za lubeerera abalala za kiseera kyokka era Eklezia yateekawo omwagaanya ogubawa omukisa okuddirizaamu mu ndagaano zino singa wabeerawo obwetaavu.
Wabula yagambye nti bo abasosodooti endagaano bakuba za lubeerera ng’ekimu kye balagaanya Omukama bwe bulamu obw’okwesonyiwa Essaakalamentu lya matrimunyo era okwawukana ne babbulaaza bo bafuna ssakalamentu akabonero akalabika akategeeza enneema etalabika. Bw’ofuna essaakalamentu lya Orodiini toyinza ate kufuna lya matrimunyo.
“Tewali munnaddiini asobolo kugattibwa mu bufumbo nga Balutaaya bwe baagattiddwa nga tayise mu mitendera gino,’’ Fr. Dr. Kato bwe yategeezezza.
Wabula agamba nti olw’okuba omuntu abeera asazeewo okukyusa obulamu, abeera takyayitibwa bbulaaza.