OMULABIRIZI w'obulabirizi bwa Kampala Dr. Hannington Mutebi azzeeyo mu kkanisa mwe yabatirizibwa emyaka 50 egiyise ,n'alaga obukulu bw'okukola ebya Katonda, agambye nti tayinza kwabulira oyo akola ebibye mu kaseera k'akazigizigi kaaba alimu.
"Nze Sirina kyenjogera ku Katonda, byampisamu bingi, olaba yamponya Lukemiya! Bwe nnafuna ekirwadde ekyo mu 2019 nnali mmanyi kaweddemu, naye olw'okuba nkola ebya Katonda teyandekerera. Mu kaseera ako, mbasaba mukole ebibye muzimbe nga temweganya, temutuulira ssente, naye ajja kukola ebyammwe. Temulinda kukakibwa kuwaayo! Mbeebaza mwebale essaala n'okuwaayo kwe mwawaayo olw'okunziza engulu,"Bw'atyo omulabirizi Mutebi bwe yategeezezza.

Omulabirizi Mutebi Ng'asabira Ezimu Ku Ssente Ezasondeddwa Olw'okuzimba Ekkanisa.(moses Nyanzi)
Omulabirizi Mutebi mu 2019 yalumbibwa ekirwadde Kya Lukemiya,namala omwaka Mulamba ng'ajjanjabwa ebweru w'eggwanga,naye olw'ekisa kya Katonda yajjanjabwa n'adda engulu era yakakasizza abaabadde bamutegedde amatu nti takyalina buzibu bwonna kuba abasawo oluvannyuma lw'okuddamu okumwekebejja baakizuula ng'omusaayigwe oluvannyuma lw'okumukyusa obusomyo yatereerera ddala era omusaayigwe gwonna kati mulamu.
Yabadde abuulira mu kusinza kwe yakulembedde mu kkanisa y'omutukuvu Andereeya ey'ekitebe ky'Obusaabadinkoni bw'e Gayaza, bwe yabadde azzeeyo ng'omu ku baabatirizibwa mu kkanisa eno n'okumaliramu ogw'okussibwako emikono emyaka 50 egiyise.
"Ekkanisa e

Omulabirizi Mutebi Ng'ali N'abakulisitaayo Oluvannyuma Lw'okumulambuza Omulimu Gw'okuzimba Ekkanisa.(moses Nyanzi)
no ye yatufuula kye tuli Kati nze n'abenju yange,mwenzaalwa,bambatiriza wano mu 1969. Omusumba Jjemba eyaliwo mu kiseera ekyo,nga nnina emyaka 9,omulabirizi Dunstan Nsubuga n'anteekako omukono nga tuva ewaffe e Kito - Wampeewo," Bp. Mutebi bwe yagasseeko.
Abantu abazze bawaayo olw"okuzimba baasimiddwa nga baweebwa amabaluwa agabasiima n'oluvannyuma bazzizaako okusonda ensimbi okwongera okuzimba ekkanisa okuva ku mutendera kati weeyimiridde.
Bp. Mutebi yeeyamye obukadde bubiri n'awaayooko 50, ng'okusonda mu buliwo kwavuddemu obukadde kkumi na buna mu emitwalo nsanvu (14,7000,000/=) ate mu bisuubizo 47,340,000/=).