Bill Gates wa Kampala bamuggalidde lwa kukuba amubanja n'amuggyirayo n'emmundu

POLIISI eggalidde omugagga Moses Kalungi oluvannyuma lw'omuntu amubanja okumuggulako omusango gw'okumukuba n'okumutiisatiisa bwe yamusongamu emmundu.

Omugagga Moses Kalungi Kirumira eyeeyita Bill Gates
By Eria Luyimbazi
Journalists @New Vision

Kalungi amanyiddwa nga Bill Gates yaggaliddwa ku poliisi ya CPS ku Mmande abaserikale bwe baamukutte ku bigambibwa nti yakuba Kali Kasumba eyali amubanja obukadde 14.

Omumyuka w’omwogezi  wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Kalungi okuggulwako emisango ky’ava ku Kasumba okugenda mu ofiisi ze nga December 8, 2021 n’amubanja ssente oluvannyuma lw'okumuyamba okukola ku byamaguzi bye okubiyingiza eggwanga okuva ku mwalo e Mombasa.

Yategeezezza nti Kasumba eyali awerekeddwako kitaawe bwe baatuuka mu ofiisi ya Kalungi n’amutegeeza nti ssente ze yali amusabye nnyingi.

Kasumba yagambye nti bwe baalemwa okukkaanya ne balwanagana Kalungi n’amukuba n'okumutiisatiisa  ng’amugirayo emmundu.

Oluvannyuma Kasumba yeekubira enduulu ku poliisi ya CPS naggulawo omusango  ku fayiro nnamba: SD 76/08/12/2021. Ye Kalungi yagenda ku poliisi ya Arua Park naye n'aggulawo omusango.

Owoyesigyire yagambye nti nga December 9, 2021 abaserikale ku poliisi ya CPS bawandiikira Kalungi ebbaluwa emuyita okweyanjula nga December 10, 2021 kyokka n’atalabikako ekyaleetedde abaserikale okumukwata oluvannyuma lw’omuwaabi wa gavumenti okuyita mu fayiro ze.

Kyokka oluvannyuma Kalungi yakkaanyizza ne Kasumba n’ayimbulwa ku kakalu ka poliisi n’alagirwa okweyanjula.