Bya Musasi Waffe
YIINO emmotoka Brabus 800 gy’oyinza okuyita ‘Empologoma y’oku luguudo eyeebyewuunyo’ era ekirooto kya buli mugagga!.
Brabus 800, kika kya Mercedes Benz eri mu lulyo lwa AMG G63 (Cross Country) Omuzungu gye yakola n’agimalirako amagezi.
Si misinde, si kunyirira, si tekinologiya agirimu oba ekitiibwa kyayo, yo Brabus 800 eri mu kiti kyayo yokka.
Omu ku bantu ababalirwa ku ngalo abalina mmotoka eno ye kafulu mu kucanga omupiira, Christiano Ronaldo enzaalwa ya Portugal.
Mu kiseera kino omupiira agucangira Saudi mu kiraabu ya Al-Nassr gye bamusasula omusaala gwa doola obukadde 17 n’emitwalo 75 buli mwezi (mu za Uganda obuwumbi 68, n’obukadde 147) nga zino bw’ogabanyaamu z’afuna buli wiiki, ali mu doola obukadde 4 n’emitwalo 43 (eza Uganda obuwumbi 17) ekitegeeza nti buli lunaku afuna emitwalo gya doola 63 ne 3,900 (eza Uganda obuwumbi 2 n’obukadde 433).
Emmotoka Ekika Kya Benz Brabus 800.
Brabus ya Ronaldo bwe yali agigula, yakola wooda ng’alina by’ayagala bagisseemu okutuuka n’ebyetaago bye ne sitayiro
ye era kkampuni yagenda okugiggyako engalo okugimukwasa ng’eri mu doola akakadde kamu n’emitwalo 20 (mu ssente za Uganda bwe buwumbi nga buna n’ekitundu (4.5bn).
AMAANYI GA BRABUS 800
l Erina amaanyi okutuuka ku 800 horsepower, ng’erina obusobozi okuva ku zero (0) okutuuka ku misinde gya kkirommita 100 buli ssaawa mu butikitiki 2.9!
lAkalimi kaayo aka sipiidi akatuuka ku 330, nga wagirinnye akabaati esobola okudduka buli ssaawa, ekigifuula emu ku mmotoka z’esswaga ezisinga okuwenyuka.
l Ya bbeeyi, ng’eva ku ddoola emitwalo 400 (eza Uganda akawumbi kamu n’emitwalo 50) okutuukira ddala ku doola akakadde kamu n’ekitundu (eza Uganda obuwumbi 5 n’obukadde 758). Kino kiri bwekityo kubanga kalonda yenna agiteekebwamu aba kkampuni ya Brabus okusinziira ku bwetaavu bw’omugagga.
l Munda mulimu eddiba lya leather, erya Alcantara, n’erya carbon fiber.
l Ewuluguma nga mpologoma. Erina omudumu oguwa yingini omuwaatwa mw’ekolera awatali kigiziyiza.
l Obugulumivu bwayo bugirobera okukosebwa obufunvu n’obugulumu.
l Ezitiwa kkiro 2,120 ekigifuula ennyweevu ku ttaka. Baagikola ng’esobola
okutambulira ku misinde egy’amaanyi, baagiteekako sekabuzooba n’ebyuma ebigiggumiza n’etegwa.
Mmotoka Ekika Kya Benz Brabus Nga Bw’efaanana
ZARI YEEYIYEEMU EKYUMA KYA RONALDO EKYEBYEWUUNYO
Ekyebuuzibwa ku Benz Brabus 800 kiri nti, mmotoka eno, baani abagirina mu
Uganda?
Wano mu Uganda abagagga abalina Brabus 800 babalirwa ku ngalo nga n’abamu
kigambibwa nti olw’okwagala okujooga ng’ate emmotoka eno ya bbeeyi, bagula ‘KIT’
ya Brabus 800 ku mitwalo 5 egya doola ne bayambaza Benz ya Cross Country
n’erabika nga Brabus.
KIT ebeeramu amatama, ettaala, bboneti okuli ennukuta B, bbampa zonna
ne kalonda waayo abeera ku Dashboard.
Mu Uganda, abagagga abamanyiddwa okubeera n’emmotoka ya Brabus 800
kuliko: Hassan Basajjabalaba, SK Mbuga ne Zari Hassan (The Boss Lady) kyokka
ezaabwe model enkadde so si model empya ng’eya Ronaldo.
Zari olwagiyingizzaawo n’awaga nti kati ali mu kiraasi ya Ronaldo.