Bbulooka w’ettaka abadde atutte omuguzi ku ttaka eririko enkaayana bamutemyetemye n’ddusibwa mu ddwaliro nga biwalattaka.

Ettaka eririko enkaayana ne mmotoka gye baafumise emipiira.
Bbulooka w’ettaka mu disitulikiti y’e Jinja bamutemyetemye n’ejjambiya ku mubiri gwe n’addusibwa mu ddwaliro nga biwalataka nga bamunenya okusaalimbira ku ttaka erikaayanirwa wakati w’abaana bannannyini lyo n’abagambibwa okuligula.
Ettaka liri ku kyalo kya Wairaka B Cell mu Mwiri Ward mu Kakira Town Council mu disitulikiti y’e Jinja.
Moses Kasiyo omusuubuzi w’ennyama ate nga bbulooka wat taka atemeddwa n’afuna ebisago eby’amaanyi bw’abadde atutte kaasitoma ku ttaka eririko enkaanyana.

Endagaano egambibwa okuba enjingirire.
Kasiyo ategeezeza nti alina mukulu we Fred Wazemba naye bbulooka wa ttaka bwe baagula ettaka eryo eriweza yiika emu n’ekitundu omwaka oguwedde ogwa 2025 okuva ku mugenzi Jane Nakate era ne balitemamu poloti entono ze bazze baguza abantu era nti babadde baakatundako poloti bbiri era ettaka baaligula obukadde 90.
Kasiyo yategeezeza nti okutemebwa abantu abatamanyiddwa yabadde atutte omuguzi eyabadde alambula ffuuti 50 ku 100 nti olwatuuse ne batambula okugenda okumulambuuza poloti, wabula nga bakyalambula, zaaleese omusajja ng’alina ejjambiya gw’ategeddeko elya Junior n’atandika okulwanaga naye era nti okukkakkana ng’amutemye jjambiya ku mutwe, ku mukono ogwa ddyo, ku kuggulu ne mu mugongo okumpi n’ensingo.

Endagaano gye bagamba entuufu
Mmotoka ye yagirese ku luguudo okumpi n’ettaka nti era yabadddemu ssente nti kyokka yawulidde nti baagifumise ebiso mu mipiira okugiremesa okutambula nti era katono bagikumeko omuliro kyoka ne ssente ezaabaddemu zaatwaliddwa.
Bambega ba polisii okuva ku poliisi y’e Kakira Town Council baatuuse ku ttaka okukola ogwabwe era mmotoka oluvannyuma yassiddwako emipiira emirala n’etwalibwa ku Poliisi y’e Kakira gy’ekuumirwa.

Oumo ebbaluwa gye yawandiika ng'ayagala okuwaaba
Bukedde bwe yatuukiridde abamu ku baana b’omugenzi Jane Nakate agambibwa okutunda ettaka okwabadde Elisha Elioja ne Justus be yasanze ku ttaka baategeezezza nti Fred Wazemba agambibwa okugula ettaka teyayita mu mitendera mituufu okuligula era yagula mpewo.
Ate ye Justus Oumo naye omu ku baana yategeezeza nti abantu abatannamanyika nga bakutte ejjambiya n’emiggo baalumba ku ttaka lyabwe nga bakulembeddwa Wazemba ne batema ebirime n’emmere endala era nti mukulu we Elioja bwe yasanga nga batema ebirime yagezaako okubakomya ne bamukuba bubi nnyo ne bamulumya.
Oumo agamba nti b’agulawo emisango ku poliisi y’e Wanyange ogwa nnyaabwe okubula ku ffayiro namba REF: 14/02/07/25 ate n’omulala ogwa Tresspass, Malicious Damage and Robbery ku poliisi y’e Kakira ku namba SD: 22/15/06/2025 naye poliisi teyabayamba paka kati.
Nti beekubilirako enduulu eri Pulezidenti Museveni bwe baawandiika baluwa nga June 25/2025 ne bagiweereza mu State House nga bamusaba ayingire mu nsonga zino basobole okutaasa ettaka ly’ebiggya baabwe.

Bbulooka gwe baatemye
Abakungu okuva mu State House bajja n ebakuba olukiiko ku nga bawerekeddwako omuyambi wa RDC wa Jinja Samuel Kawuuta era oluvanyuma ne bawandiikira offiisi ya RDC okunoonyereza n’okuyamba okugonjoola ensonga ezo.
Oumo yayongeddeko nti Wazemba ne banne abalala baajingirirara endagaano ya nnanyini ttaka omugenzi Samuel Musabe kwe yatundira eri Maama waabwe Jane Nakate ku mitwalo 100,000 eyakolebwa nga 18th/4/1988 kyoka nga bo (abaana) balina endagaano entuufu eyakolebwa nga 5th/6/1987 nga eraga nti Musabe ettaka yaliguza kitaabwe Oumo ku mitwalo 150,000.
Omubaka wa gavumenti owa disitulikiti y’e Jinja Ahmed Kateregga Musaazi yatuseeko ku ttaka n’ategeeza nti ensonga yeetaaga kuzikwata mpola ng’okunoonyereza bwe kukolebwa.
Kateregga yavumiridde eky’okutwalira amateeka mu ngalo n’okuyiwa omusaayi n’ategeeza nti ensonga eno bagenda kugikwata mpola paka bwe banaagiggusa.