Basabye babawe obuyambi okuli ebyokulya, ebyokwambala n'obuyambi obulala basobole okuyita mu nnaku enkulu nga basanyufu nga abaana abalala.
Bano nga bakulembeddwa Omutume Richard Zziwa amanyikiddwa nga Richie Zion owa kkanisa ya World Ghetto Church e' Mengo Kakeeka zzooni, Alex Mukisa amanyikiddwa nga Paasita Muto, Samuel Mugisha Wamu n'abaweereza abalala okuva mu kkanisa eno bavuddeyo ne basaba abantu abalinamu ku busobozi okulowooza ku baana abatalina mwasirizi.

Zziwa owa World Ghetto Church e Mmengo ng’annyonnyola bwe baabadde mul ukung’aana lwa bannamawulire.
Embeera eno ebawalirizza okuvaayo n'enteekateeka mwe bagenda okukung’aanyiriza abaana bonna abawangaalira mu bitundu bino nga babafumbira ekijjulo kya kulisimansi nabo beeyagaleko nga abalala .
Bano nga basinziira mu lukung’aana lwa bannamawulire olutegekeddwa ku kkanisa ya World Ghetto Church e Mengo bateeseteese ekivvulu kya Christmas Ghetto Church Tubonge n'ekigendererwa eky’okusanyusa abaana abawangaalira ku nguudo ne mu Ghetto.
Zziwa yategeezezza nti ekimuwalirizza okuvaayo n’enteekateeka eno ye mbeera abaana abawangaalira mu bifo bino gye bayitamu naddala mu nnaku enkulu.
Yategeezezza nti kino akikoze kubanga naye yakulira ku nguudo era amanyi obulumi abaana bano bwe bawangaaliramu.
Mukisa ate ye yategeezezza nti abantu abamanyi obulumi bw’okukulira ku nguudo bamanyi bulungi abaana bano kye bayitamu naddala mu nnaku zino enkulu. Yasabye Abasumba bonna abalina obusobozi okudduukirira abaana bano.