Amawulire

Bawangudde ssente za Bukedde ku Wiikendi

OMUWANGUZI eyasoose mu kalulu ka Bukedde ku Wiikendi asiimye Bukedde olw’okumuyigiriza Oluganda n’okuddiza ku basomi.

Omukung’aanya wa Bukedde, Michael Ssebbowa (ku ddyo) ng’akwasa Kagaba 200,000/- ze yawangudde.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Wilson Ssemmanda

OMUWANGUZI eyasoose mu kalulu ka Bukedde ku Wiikendi asiimye Bukedde olw’okumuyigiriza Oluganda n’okuddiza ku basomi.

Romano Kagaba ow’e Kabowa Church Zone mu Munisipaali y’e Lubaga bwe yabadde akwasibwa ssente 200,000/- ze yawangulidde mu kalulu k’okujjuza akakonge akabeera

mu Bukedde ku wiikendi (laba wansi) yategeezezza nti mu Bukedde mw’ayigidde Oluganda, y’amuwummuza ebirowoozo n’okumanya ebiri mu nsi.

“Nze omanyi ndi musajja Mutooro, naye Oluganda nduyigidde eno naddala nga nsoma Bukedde, era mbeebaza kubanga ate mwongeddeko n’okumpa ssente, ne nkakasa nti bye musuubiza bibeera byaddala”, Kagaba bwe yabadde ku mpewo za Bukedde TV 1 ng’akwasibwa ssente ze yawangudde.

Ssente zino zaamukwasiddwa Omukung’aanya wa Bukedde Michael Mukasa Ssebbowa eyategeezezza nti mu kalulu akaasooka abawanguzi baali babiri okwali Kagaba ne munne Aliyi Kiuyo ow’e Wanale mu Mbale City eyasabye nti yabadde tasobola kujja ku Lwokuna ne kisalibwawo nti ssente ze za kumusindikirwa era ne zimusindikirwa.

Agamba nti Bukedde waakusigala ng’addiza ku basomi be ng’ayita mu lupapula olufuluma buli Lwamukaaga nga bayita mu kujjuza akakonge akafulumira ku muko ogwokubiri.

“Ggwe gula Bukedde, ogende ku muko ogwokubiri ojjuze erinnya lyo, ennamba y’essimu n’ekitundu gy’obeera, oluvannyuma osalemu akakonge obaweereze ku kitebe

kya Vision Group e Lugogo oba okawe abatunda amawulire ga Bukedde ne New Vision, bajja kukatuusa ng’obwo mwe tulonda bannamukisa.”

OMUWANGUZI WA WIIKI ENO

Mu Pulogulaamu y’emu eya Oluyimbalwo ebeera ku Bukedde TV 1, akalulu ka wiiki eno kaakubiddwa ng’omuwanguzi ye Salim Kiboye ow’e Mbale Namakwekwe, nga waakukwasibwa ssente ze ku Lwokuna lwa wiiki etandika.

Tags:
Bawangudde
ssente
Bukedde ku Wiikendi