Oluvanyumba lwa bantu 3 okuffa e Kitintale mu munisipaali ye Nakawa ng’obuzibu bwava ku myala okujjula enyumba neziggwa abantu abo nebafiiramu,ekitongole kya KCCA kitandise okukola omwala gwa Nyakana okugamibibwa okuvaako obuzibu.
Meeya we Nakawa Paul Mugambe ne yinginiya wa KCCA Paul Musibira bebatongozza okukola omwala gwa Nyakana nga guno guggya amazzi okuva ku mwala gwe Wankoko olwo negakungaana negagwera mu nnyanja Victoria.Mwala
Mugambe ategezezza nti baasazeewo okukola omwala guno n'emyala egy'enjawulo mu gombolola ye Nakawa oluvannyuma lw'enkuba okutonnya ennyo gyebuvuddeko eyaviirako amazzi okubooga mu bitundu bye Nakawa eby'ejawulo ekyagireetera okusuula amayumba g'abantu nga muno mwafiiramu n'abantu basatu balamba. Mugambe ategezezza nti kikwasa ennaku okulaba nga obulamu bw'abantu butokomoka nga obuzibu buva ku kubooga kw'emyala gino egiri mu kitundu nga kino kyekibawalirizza okusitukiramu okugikolako. Kyokka Mugambe yenyamidde nnyo olw'abantu abakyalemesezza enkul;aakulana mu kitundu naddala nga bamansa kasasiro mu myala gino ekigiviirako okuzibikira negyanjaaza amazzi mu bantu. Asabye abantu buli omu okubeera mbega wa munne nga balabirira emyala gino kiyambeko okugikuuma nga mirungi kubanga kibayambira wamu.Abakulembeze nga bali ku mwala
Bakansala b'ekitundu kino okuli Moses Walusimbi ne Vianne Muwonge nga bali wamu ne Nabakyala Madiinah Mukose basiimye nnyo meeya we Nakawa n'ekitongole kya KCCA okuvaayo nebabakolera ku myala mu kitundu kyabwe kubanga gibadde gifuuse akattiro mu kitundu kyabwe naddala nga abantu bafiira mu mazzi agabooze. Isa Tabalo atwala eby'okwerinda mu muluka gwe Mutungo asabye abatuuze bulijjo okubategeezanga ku bantu bebatategeera bebasanga ku myala gino kubanga kizuuliddwa nga abazzi b'emisango bagiteegerako abantu nebabatulugunya. Omulimu gw'okuzimba omwala guno guweereddwa aba kampuni ya Smart Contructors bano bakubiriziddwa okukola obulungi omulimu guno era mu bwangu kubanga abantu bali bubi.