SSABAWANDIISI w’ekibiina Kya NRM Richard Todwong atongozza ekibiina omwegattira abayimbi abasuusuuta ekibiina kya NRM n’ategeeza nti bakwongera okuwagira bannabitone abafubye okusomesa n’okubuulira Bannayuganda ebirungi NRM by’ekolede eggwanga.
Ekibiina kino kyatuumiddwa ‘ Movement awooma combined artistes association ‘ nga omuyimbi Munnamasaka Emma Nsereko yali emabega waakyo.
Emikolo egy’okutongoza ekibiina kino gyayindidde ku kitebe Kya NRM mu Kampala era nga gyetabiddwaako abayimbi abenjawulo okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.