ABASUUBUZI ne bannabyamizannyo beeyiye e Luweero okuziika omugagga Edward Mperese Nsubuga gwe baatenderezza ng’abadde ow’enjawulo asobodde okussa ettoffaali ku nkulaakulana y’eggwanga.
Omugenzi alese emmaaliokuli; ebizimbe wakati mu kibuga n’ebbali waakyo ebibalirirwamu obuwumbi. Yaziikiddwa ku kyalo Bakijjulula - Bugungu mu Luweero eggulo ku Ssande.
Yafa ku Lwakubiri mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’atawaanyizibwa obulwadde. Aba ffamire baategese okusaba
okw’okwebaza olw’emirimu gye yakola nga kwabaddewo ku Lwakutaano mu kkanisa ya Uganda Martyrs e Namugongo. Okusaba kwakulembeddwaamu Omusumba Michael Wasswa eyakuutidde abantu okweyisa obulungi nga balabira ku Mperese alese omukululo ogulabika. Christine Nalwoga nga ye yakulembedde abaana b’omugezi
yeebazizza buli muntu eyafuddeyo okujjanjaba kitaabwe kubanga alwalidde ebbanga
eddene. Yategeezezza nti kitaabwe abakoleredde era buli kintu abadde akibaagaliza.
Eggulo, ssentebe w’abagagga bannanyini bizimbe mu kibiina kya Bagagga Kwagalana, Godfrey Kirumira yaweerezza obubaka obwatenderezza omugenzi Mperese nti abadde kyakulabirako kirungi eri emiti emito mu kukola n’okukulaakulanya eggwanga. Omubaka yabutisse mutabani we, Gideon Kabuye Kirumira obwalaze nti omugenzi abadde wa njawulo mu bintu bingi. Nti mu busuubuzi akutte bangi ku mukono ate mu byemizannyo nawo abadde wa njawulo nnyo. Yawaddeyo amabugo ga 500,000/-.