Abasogozi b’omwenge, abayimbi, bannakatemba n'abagutunda baagala gavumenti eddemu yeetegereze ebbago erikwata ku mwenge erya Alcoholic Drinks Control Bill, 2023 nga bagamba nti ssinga liyisibwa, lyakuleka abantu abasoba mu bukadde 4 nga tebalina mirimu.

Omuyimbi Ragga Dee ng'annyonnyola.
Bano baasinzidde mu nsisinkano ne minisita avunaanyizibwa ku bya makolero ne bamusigansimbi, Evelyn Anite ku kitebe kya minisitule y’ebyensimbi mu Kampala.
Kwabaddeko ne minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi, amakolerero n’obweggasi David Bahati ne basaba gavumenti okuyimiriza ebbago lino palamenti esobole okuddamu okwebuuza ku bantu bonna abakwatibwako.
Onapito Ekomoloit, ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Nile Breweries Limited (NBL) yategeezezza nti ebbago lino si lyabwenkanya era ligendereddwamu okunyigiriza Bannayuganda n’okwongera ebbula ly’emirimu mu ggwanga.
Yagambye nti ensonga y’ebbago lino nkulu nnyo era ekwata ku bantu bangi okuviira dala ku balimi, abasogozi, abatambuza omwenge, ab’ebbaala, kkampuni ensogozi z’omwenge n’abalala. Yayongeddeko nti nga ssinga limala gafuulibwa tteeka, eggwanga lyolekedde okufiirwa omusolo oguli eyo mu Kase kamu aka ddoola.
Abasogozi b’omwenge abeegattira mu kibiina kya Uganda Alcohol Industry Association (UAIA) bagamba nti be bamu ku bawi b’omusolo abataano abasinga okuwa omusolo mu ggwanga nga bano bavaamu omusolo gwa bitundu 35 ku 100 buli mwaka nga ssinga ebbago lifuulibwa etteeka kijja kukosa eggwanga lyonna.

Ab'ekibiina ekigatta abasogozi b'omwenge mu ggwanga nga bakwasa Bahat ne Anite ekiwandiiko omuli okwemulugunya kwabwe
Allan Ssenyondwa, dayirekita w’ekitongole ekivunaabyizibwa ku by’okunoonyereza ku Uganda Manufacturers Association (UMA) yagambye nti ebbago balyaniriza kyokka terisaanye kusosola kubanga okunoonyereza kulaga nti abantu bangi bakola omwenge ogw’obulabe mu maka gaabwe oguli ku katale ebbago be litayogerako amaanyi ne bagateeka ku bakolera mu mateeka.
Ssentebe wa bannannyini bbaala abeegatiira mu kibiina kya Legit Bar, Entertainment and Restaurant Association (LEBRA), Tesfalem Gherahtu, yagambye nti ensonga y’obudde terina ky’eyinza kukyusa ku nnywa ya bantu kubanga abantu basobola n’okunywera mu maka gaabwe ne batamiira.
Yasabye palamenti okutunuulira ennyo omuwendo gwa bantu abagenda okufiirwa emirimu okuviira ddala ku balimi n’abakozi. Daniel Kazibwe, amanyiddwa nga Ragga Dee, eyakiikiridde abanywi b’omwenge yagambye nti ebbago lino ligendereddwamu kumalako bantu ddembe lyabwe lya kunywa n’okusanyuka kubanga omwenge kye kimu ku bintu ebireeta essanyu mu bulamu.
Yayongeddeko nti abayimbi ne bannakatemba abasoba n’abantu be balabirira baakukosebwa ssinga ebbago lino lifuulibwa etteeka.
Wano minisita Bahati we yategereezza nga bw’agenda okwanjula ebirowoozo bino mu kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by’obusuubuzi.
Kyokka yakikkatirizza nti ebbago lino ligenderwamu okulambika ebyenfuna, embeera z’abantu n’ebyobulamu. Minisita Anite yategeezezza nti baakwekeneenya nnyo obuwaayiro obuli mu bbago lino naddala ku ludda lw’ebyenfuna.