Bya S. Kiragga, P Bukenya, P. Ssuuna, M. Nambwayo, M. Musisi, M.lemisa ne Lawrence Kizito
ABASUMBA b’Abalokole obubaka bwa Ssekukkulu baabwesigamizza ku kukubiriza abantu okukola ebikolwa eby’ekisa eri bannaabwe, n’okwebaza Katonda olw’ebyo by’abakoledde.
PAASITA BUGEMBE
Owa The Worship House e Nansana, yalabudde abakola ebikolwa ebikyamu eri bannaabwe okukimanya nti waliwo essaawa y’okusasulira byonna bye bakola nga bali mu maaso ga Katonda.
Yabasabyekuleka eby’ensi ebibamalamu bagoberere Kristu eyazaaliddwa bafune obulamu obutaggwaawo.
BISHOP DAVID KIGANDA
Owa Christianity Focus Centre mu Kisenyi, yavumiridde abantu abanyiigira Katonda olw’obutabawa bye baagala ng’ate waliwo abafudde ne baleka ssente empitirivu nga tezirina kye zisobola kubayamba.
Yasabye abalokole okujaguza nga bamutendereza n’okukola ebikolwa ebimuweesa ekitiibwa.

Paasita Judith
PAASITA JUDITH SSOZI Owa Grad Tiding Ministries e Kaleerwe yagumizza abantu abalina enjogera egamba nti omwaka gubasaze, n’agamba nti eky’okuba nga batuuse ku mazaalibwa nga balamu kimala bumazi okwebaza Mukama n’okumutendereza kubanga waliwo abatakyasobola na kwogera ku pulaani ezigaanye kubanga omwaka gwagenda nabo.
BRO. RONNIE MAKABAI ye yakulembeddemu okusaba ku Kkanisa ya ETM, Holy City e Bwerenga n’avumirira obuli bw’enguzi n’ekiwamba bantu ekiri mu ggwanga bye yagambye nti bivudde ku bantu okwerabira Katonda. Abalokole yabasabye okuyamba abanaku, bamulekwa ne bannamwandu.

Kayanja Ng'abuulira
PAASITA ROBERT YEWU
Yakulembeddemu okusaba mu Kkanisa ya Christian Restoration Ministries e Bombo, yakubirizza abakkiriza okukozesa akaseera kano okwenenya ebibi bye bakola.
PAASITA BUJINGO: Owa House of Prayer Ministries e Makerere – Kavule yavumiridde abantu abafudde amazaalibwa ga Yesu ebiduula by’okukoleramu ebikolwa by’obwenzi n’ettamiiro mu kifo ky’okujjukira amazaalibwa g’omulokozi nga beenenya n’okuyamba abanaku. Okusaba kuno kwetabiddwamu mininsita omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja.
PAASITA ROBERT KAYANJA: Owa Miracle Centre Cathedral e Lubaga yasabye Bannayuganda okukozesa amazaalibwa g’omulokozi okufuna omutima omugabi kubanga mu nsi eno wakyaliyo abantu abeetaaga okuyambibwako mu ngeri emu oba endala.