Bya James Magala
ABALI ku ddimo ly'okulwanyisa okusaasana kw'omusujja gw'ensiri mu ggwanga basabye Bannayuganda bonna okusitukiramu okulwanyisa omusujja guno mu bitundu byabwe.
Bano nga bakulembeddwaamu akulira olukiiko olumanyiddwanga Malaria Free Uganda, Kennenth Mugisha, basinzidde mu nsisinkano yaabwe mu Kampala ne ne bajjukiza abantu okussa essira ku nsonga y'obuyonjo mu bitundu gyebali okusobola okwetangira omusujja gw'ensiri.
Mugisha agamba nti omusujja gw'ensiri gusaasana nnyo mu bitundu ebirimu ensiko ko n'ebidiba by'amazzi ebicaafu ,nga muno ensiri mwe zisinga okwalulira olwo ne zisaasanya omusujja, nga wano asabye abantu okusaawa ensiko zonna ezibeetoolodde ko n'okweggyako amazzi amakyafu.
Mu ngeri y'emu Mugisha, asabye abantu okwettanira okusula mu butimba bw'ensiri n'ategeeza nti baakutalaaga eggwanga lyonna nga basomesa abantu ku ngeri gye bayinza okwetangira omusujja guno.
Bbo abakugu mu byobulamu balabudde abantu okukomya okumira eddagala awatali kusooka kwekebeza, ekivaako omusujja okukona ng' oluusi ne bwebamira eddagala terikola.
Comments
No Comment