BANNALOTALE okwetooloola Uganda bakubye enkata eddwaliro lya Bukerere Health Center II n’ensimbi obukadde 20 ziyambeko okumaliriza waadi y’abakyala ab’embuto esangibwa ku ddwaliro lino.
Owomugisha ng'akwasa akulira eddwaliro lya Bukeerere health center II Josephine Nassazi ceeke.
Immaculate Blessing Owomugisha, okuva mu Rotaract club of Kampala South akulembeddemu enteekateeka eno agamba nti baasalawo okulonda pulojekiti eno kubanga erina abantu bangi n’ebyalo munaana ssaako abakyala abasukka mu 300 abakozesa eddwaliro lino.
Owomugisha yayongeddeko nti abakyala tebalina waakuzaalira kye baava baasalawo okutegeka ekivvulu kya katemba okusobola okusonda ensimbi ez’okuyamba okuzimba basobole okuutaasa abakyala abazaala.
Ekizimbe ekiriwo omuli eddwaaliro bwe kifaanana.
Ye akulira eddwaliro lino, Josephine Nassaazi asiimye abalotale okubakwatizako kubanga babadde bazimba ng’akasente bakaggya ku bulwadde nga bakung’aanya wakati wa 2,000/= ne 3,000/=.
Musawo Nassaazi yagambye nti bakyalina okusoomooza kwe bayitamu omuli obufunda bw’ekifo n’eky’abakyala we bazaalira, obutaba na ambyulensi, ebbula lya masannyalaze nga n’oluusi bakozesa ttaala na tooci okuzaalisa.
Ekipya nga bwe kifaanana.
Abakyala abasoba mu 15 be bazalira mu kifo kino buli mwezi era nga bantu abasoba mu lukumi be bakozesa ekifo kino.
Connie Magomu Masaba, pulezidenti wa bannalotale e Ssonde yagambye nti ensimbi zino zigenda kuyamba nnyo okumaliriza ekizimbe kino bamaama basobole okubeera n'ekifo ekirungi ate nga kigazi.
Ono yasabye abazirakisa okuvaayo bakwatizeeko eddwaliro lino abantu basobole okugendayo nga bafuna empeereza ennungi ate nga baagala eddwaliro lino okufuuka eddene.