Bannaddiini temusirika ku nsongaeziruma abantu

BANNADDIINI basabiddwa okwogera ku nsonga ezinyigiriza abantu baleme kusirika olw’okubanga batya be boogeddeko okubamma ebirabo by’emmotoka n’ebintu ebirala.

Bp. Hannington Mutebi (ku kkono), Can. Benon Kityo, Can. Magala Musiwuufu, Bp. Moses Banja, ddiini omuggya Can. Dunstan Kiwanuka Mazinga, addiriddwa mukyala we, Can. Lovincer Kiwanuka ne ddiini eyawum
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

BANNADDIINI basabiddwa okwogera ku nsonga ezinyigiriza abantu baleme kusirika olw’okubanga batya be boogeddeko okubamma ebirabo by’emmotoka n’ebintu ebirala.
Bino byayogeddwa eyaliko ddiini wa Lutikko y’e Namirembe, Can. Augustine Magala Musiwuufu, bwe yabadde akulembeddemu okubuulira ku mukolo gw’okutuuza n’okulaga ddiini wa lutikko eno ow’ekkumi ogwabaddewo ku Ssande.
Can. Musiwuufu yategeezezza nti bannaddiini ennaku zino bakola gwa kusaba mmotoka na mayumba wabula bwe kituuka ku ky’okwogera ku nsonga eziruma abantu bafuuka kyesirikidde.
Ddiini eyalondeddwa ye Rev. Can Dunstan Mazinga Kiwanuka nga y‘abadde ssaabadiikoni w’e Gayaza, eyazze mu bigere bya Rev.Can Jonathan Kisawuzi Ssaalongo eyawummula mu December wa 2024.
Musiwuufu yakuutidde Mazinga okubeera omuvumu aleme kutiiririra ensonga zonna azoogerengako mu bulambulukufu bwazo ne bweziba nga zinyiiza abamu.
Era yamukuutidde okulaba ng’alwana okukuuma ettaka ly’ekkanisa kubanga mu Buganda waliwo abantu abeefunyiridde okunyagulula ettaka nga n’ery’ekkanisa tebalitalizza.
Yamukuutidde okusoosowaza ensanga za Buganda kubanga ekkanisa yazimbibwa ku musingi gwa Buganda.
Yasoomoozezza abaweereza okwettanira okusoma ebifulumira mu mpapula z’amawulire okusobola okuba abamanyi olwo babuulire enjiri eriko.
Yasiimye ddiini abaddeko olw’obukulembeze obulungi n’okutwala ekkanisa mu maaso era n’asaba azzeeko okukulembeza obukozi. Oluvannyuma omuwandiisi w’obulabirizi Rev. Henry Ssegawa, yayanjudde ekiteeso ky’okutuuza ddiini omuggya, olwo bassaabadinkoni abaabaddewo ne bamwanjula eri omulabirizi Banja eyamukubisizza ebirayiro n‘ayambazibwa ebyambalo by’ekitiibwa kyobwa ddiini.
Oluvannyuma omulabirizi yamukwasizza ebikozebwa era n‘amutuuza mu ntebe y’obwaddiini.
Banja yasabidde Kiwanuka ne ffamire ye n’abakuutira okubuulira enjiri ey’obumu mu bikolwa ne mu bigambo.
Ddiini omuggya yeebazizza Katonda olwokubalonda okubatuusa ku buweereza buno.
Obubaka bwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, bwasomeddwa omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Patrick Luwagga Mugumbule eyayozaayozezza Bakiwanuka olw’okutuuka ku kkula lino, n’amusaba okunyweza enkolagana ne Buganda.