Balandiroodi balabuddwa ku butayanjula bapangisa bapya
BALANDIROODI abatayagala kwanjula bapangisa baabwe mu b'obuyinza balabuddwa.
Balandiroodi balabuddwa ku butayanjula bapangisa bapya
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
Bino byogeddwa Robert Walugembe akulira eby'okwerinda ku kyalo kya Wakimese cell mu Kyengera Town council.
Walugembe yategeezezza nti balandiloodi abamu bakulembeza ssente nebatafaayo kumanya bikwata ku bantu bebasenza ate ng'abamu babeera bakozi babikolobero gyebaba bavuddeko.
Ono Kati agamba nti omuntu yenna atalina baluwa okuva ku kyalo gyavudde siwakukirizibwa mu kitundu kyabwe ng'emu ku nkola y'okulwanyisa obumenyi bwamateeka.