MINISITA wa Gavumenti ez’ebitundu, Balaam Barugahara akutte Town Clerk wa Wakiso Town Council oluvannyuma lw’abasuubuzi mu katale ka Wakiso Central Daily market okumulumiriza n’omu ku bakozi be okutunda emidaala eri abagagga ekyavuddeko abamu ku basuubuzi obutafuna.

Mabanja ng'annyonnyola.
Jimmy Mabanja yakwasiddwa akakiiko ka State House Anti-Corruption Unit era Balaam n’alagira akakiiko okunoonya Commercial officer wa Wakiso Town Council, Nathan Mwanika naye akwatibwe.
Balaam yalagidde akulira abakozi e Wakiso, Jude Mark Bukenya, okuteeka abakozi bano ku katebe ebbanga eritali ggere, bongere okunoonyereza ku mivuyo egy’enjawulo gye babadde bakola ate lipooti ekolebwe mu bwangu.
Gavumenti ng’eyita mu World Bank, yawa Wakiso obuwumbi 23 okuzimba akatale akali ku mutindo, kyokka olw’okuba abasuubuzi baali tebayinza kukolerawo nga bwe bazimba, disitulikiti yasalawo efune w’ebasengulira okumala emyaka 2.

Balaam ng'ayogera n'abasuubuzi.
Baakwatagana ne kontulakita wa Techno 3 era nebafuna ekifo ne batekawo emidaala, era nebakkanya nti RDC wa Wakiso n’abakungu okuva mu minisitule ya Kampala bebalina okuyingiza abasuubuzi nga bamaze n’okwekebejja webabatadde.
Kyokka nti Mabanja ne Mwanika ssaako abakozi ba Gavumenti abalala, baasalawo kuyingiza abasuubuzi ku Lwokuna ssaawa 9:00 ez’ekiro, era abasuubuzi abatuufu bagenda okutuuka ng’emidaala giweddewo.
Abasuubuzi beekubidde enduulu ewa RDC wa Wakiso Justine Mbabazi, naye eyategezezzaako minisita Balaam eyasutukiddemu n’agenda ku katale okugonjoola ensonga zonna.

Minisita Balaam ng'annyonnyola.
Ssentebe w’abasuubuzi mu Wakiso, Vincent Kasozi yategeezezza nti kyewuunyisa okuba nga Gavumenti yawa Wakiso obukadde 850 okuteekateeka we basengulira abasuubuzi kyokka ate Mabanja ne banne ne basalawo okuGGYa ssente mu basuubuzi mu lukujjukujju.
Kasozi yagambye nti tagenda kukkiriza basuubuzi kutulugunyizibwa kuba waliwo bangi abamaze emyaka 15 ne 20 abataaweereddwa midaala ate ne banaayiza abavudde e Nansana n’ewalala.
John Lukakka nga musuubuzi w’amanda mu katale, yagambye Balaam nti Mabanja yawereza ttiimu mu katale nebategeeza nti bagenda kubasengula, naye abagala emidaala emirungi balina okuwaayo ssente okufuna omudaala ewalala.