Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku Magana, Bright Rwamirama ayanjulidde akakiiko ka palamenti akalondoola eby’obulimi n’obulunzi embalirira y’ekitongole ya trillion 1 n’obuwumbi 4994 ng’etwala ebitundu 3 n’obutundutundu 2 ku mbalirira y’eggwanga eya trillion 49.9 ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja eri mu bubage.
Ssentebe w'akakiiko Janet Okori Moe ng'akubiriza akakiiko.
Minisita Rwamirama ategeezezza nti obuvubi bikola kya maanyi nnyo ku nnyingiza y’eggwanga nga kati beetaaga ensimbi obuwumbi 30 okugulira abavubi obutimba kw’ossa ne yingini ze beeyambisa okulaba nga nabo bafuna mu mulimu gwabwe kyongere ensimbi ku byenfuna by’eggwanga gye bujja.
Minisitule era yeetaaga obuwumbi 15 okuzimba ebidiba omulundirwa ebyennyanja nga bino byakuweebwa ebibiina by’abakyala n’abavubuka eby’okwekulaakulanya okwetooloola eggwanga yadde nga mu nteekateeka eno baweereddwa akawumbi kamu.
Mu by’okugema ensolo, minisitule yeetaaga obuwumbi 38 n’obukadde 40 nga baweereddwako obuwumbi 4 bwokka mu nte ekateeka eno, era nga obuwumbi 15 n’obukadde 80 ze zeetagibwa okugula eddagala erifuuyira ebirime. Baweereddwaako obuwumbi 2 n’obukadde 23.
Minisita Rwamirama bwatyo awanjagidde ababaka ku kakiiko kano akakuubirizibwa omubaka omukyala owa Abim-Janet Okori Moe okubayamabako okulaba nga ensonga ezitaweereddwa nsimbi zifiibwako ate nga n’ezeenkizo ezaasaliddwako ensimbi nazo zongezebwa.