Ba RDC 40 bakyusiddwa:Kampala, Luweero, Mpigi, Kalungu, Mubende, Kiboga zifunye abapya

OFIISI ya Pulezidenti ekoze enkyukakyuka mu ba RDC, nga kigambibwa nti enkyukakyuka zino zeekuusa ku byabadde mu kamyufu ka NRM akaawedde wakati mu mivuyo emiyitirivu.

Hajji Yunus Kakande
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OFIISI ya Pulezidenti ekoze enkyukakyuka mu ba RDC, nga kigambibwa nti enkyukakyuka zino zeekuusa ku byabadde mu kamyufu ka NRM akaawedde wakati mu mivuyo emiyitirivu.
Enkyukakyuka zino zaakakasiddwa omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ensonga za Pulezidenti, Hajji Yunusu Kakande, kyokka bwe yabuuziddwa oba zeekuusa ku byabadde mu kamyufu yagambye nti talina ky’abyogerako.
Mu nkyukakyuka zino, eyaliko omubaka wa Kalungu East mu Palamenti, Hajji Umar Lule  Mawiya aggyiddwa e Mubende n’aleetebwa mu Kampala nga RCC wa Kampala, nga y’agenda okukulira abamyuka ba RCC abatwala munisipaali ettaano eza Kampala.
Mawiya azze mu bigere bya Jane Muhindo. Ate Lukka Kagenyi abadde amyuka RDC w’e Manafwa aleeteddwa mu Kampala, nga RCC w’e Kawempe. Henry Kitambula, abadde RCC w’e Lubaga, atwaliddwa Fort Portal nga omumyuka wa RCC  atwala Central Division, ate Moses Ariho n’ava mu Central Division e
Fort Portal n’aleetebwa e Lubaga ng’omumyuka wa RCC.  Seifu Katabaazi, abadde
amyuka RDC w’e Luweero, atwaliddwa e Kalungu nga RDC omujjuvu. Katabaazi
akoze emirimu egy’amaanyi mu kukyusa abavubuka ba Ghetto e Luweero, okubaggya mu bikolwa by’okunywa enjaga n’okumenya     amateeka, ekibadde kibafuula
abangu b’okukozesebwa bannabyabufuzi okukola effujjo. Mu nkyukakyuka endala, Hajji Ssempala Kigozi abadde RDC w’e Mpigi, atwaliddwa e Kiboga nga
RDC, ate Hajji Ddumba Ssentamu n’ava e Kiboga n’aleetebwa e Mpigi.
Ate Andrew Ntange, abadde amyuka RCC mu kibuga Jinja, aleeteddwa e Buikwe mu Munisipaali y’e Njeru ng’omumyuka waRDC. Ate Hassan Kasibante,
abadde amyuka RDC e Mukono atwaliddwa e Jinja nga omumyuka wa RCC atwala South Division.
Ate Kyeyune Ssenyonjo abadde RDC w’e Nabilatuk atwaliddwa Butebo, ate Paddy
Kayondo abadde RDC w’e Kalungu, atwaliddwa Mitooma. Kigambibwa
nti Kayondo ekimuleetedde okukyusibwa, z’entalo z’ebyobufuzi wakati wa Bannabyabufuzi ba NRM, nga buli nkambi ebeera eyagala RDC abeere ng’atiitiibya yo, ekivaako enkambi endala okuloopa mu bakulu. Mu balala abaakyusiddwa, ye Solome Namara, aggyiddwa e Namisindwa n’atwalibwa e Bududa. Ate Elijah Madoi aggyiddwa eBududa n’atwalibwa e Namisindwa.
Ye Saleh Kamba aggyiddwa e Kabalore n’atwalibwa e Manafwa, n’adda mu bigere bya
Wibule Patience atwaliddwa e Maracha nga RDC