Amawulire

Ayagala okufuna mu mbuzi tosubwa omudaala gwa Heifer International mu mwoleso gwa Harvest Money Expo

Mu mwoleso gwa Harvest Money Expo 2024 waliwo eyayolesa embuzi ennume eyali ezitowa kkiro 120 eyakwata abantu omubabiro kuba bangi abaagala okuyingira bizinensi y’okulunda embuzi.

Hamisi Semanda owa Ham Animal Breeding Farm ng’alaga ezimu ku mbuzi ze balunda.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Mu mwoleso gwa Harvest Money Expo 2024 waliwo eyayolesa embuzi ennume eyali ezitowa kkiro 120 eyakwata abantu omubabiro kuba bangi abaagala okuyingira bizinensi y’okulunda embuzi.
Heifer International kimu ku bitongole ne kkampuni ebitadde ssente mu mwoleso gwa Harvest Money Expo ogutegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne gussibwamu ssente kkampuni endala okuli; Engineering Solutions (ENGSOL), Tunga Nutrition, Pearl Bank, Uganda Development Corporation ne aBi Development.
Okuyingira omwoleso guno osasula 10,000/- ate okwetaba mu misimo egigenda okutegekebwa ku bintu eby’enjawulo buli lunaku osasula 10,000/- olunaku.
Hamisi Semanda dayirekita wa Ham Animal Breeding Farm, e Kasokwe mu ggombolola y’e Galiraya mu disitulikiti y’e Kayunga akolagana n’ekitongole kya Heifer International agamba nti omuntu yenna ayagala okuyingira bizinensi y’okulunda embuzi tasaanidde kusubwa mwoleso.
Bagenda kuleeta endyo z’embuzi okuli Boar, Kalihari Red ne Savvana. Zino zeezimu ku zigabibwa abavubuka n’abalunzi abaali mu nteekateeka ya Heifer International era gugenda kuyigiriza abantu by’olina okukola okufuna ssente mu mbuzi.
Ku mudaala gwa Heifer era kugenda kubeerako aba Maddo Dairies ey’Essaza lya Krezia y’e Masaka abakolaganye n’ekitongole kya Heifer okuva mu 1993.
Akulira fakitole ya Maddo Dairies Fr. Peter Ssenkaayi yagambye nti bagenda kuleeta ebimu ku bye bakola ate n’okwogera n’abalunzi okubalaga engeri gye basobola okwegatta, okukozesa obusa nga bakola omukka gwa Biogas, okutaasa obutonde ate n’okwerabirira okwekuuma nga balamu bulungi okusobola okwekulaakulanya

Tags: