Avunaaniddwa okuwamba omwana wa muliraanwa n’amutta

May 02, 2024

OMUKAZI agambibwa okuwamba omwana wa muliraanwa, n’amutta asimbiddwa mu kkooti enkulu n’asomerwa emisango atandike okwewozaako. Dative Ahimbisibweamanyiddwa nga maama Imran ow’e Nateete mu Mbaawo zzooni y’avunaanibwa n’owa bodaboda Anthony Asiimwe ow’e Nabbingo mu Kigwanya zzooni emisango gy’okwekobaana ne bawamba n’okutta omwana omulambo ne baguziika.

Omuserikale w’amakomera ng’akuuma Dative Ahimbisibwe bwe yabadde mu kkooti ku Lwokubiri.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

OMUKAZI agambibwa okuwamba omwana wa muliraanwa, n’amutta asimbiddwa mu kkooti enkulu n’asomerwa emisango atandike okwewozaako. Dative Ahimbisibwe
amanyiddwa nga maama Imran ow’e Nateete mu Mbaawo zzooni y’avunaanibwa n’owa bodaboda Anthony Asiimwe ow’e Nabbingo mu Kigwanya zzooni emisango gy’okwekobaana ne bawamba n’okutta omwana omulambo ne baguziika.
Ababiri bano baaweerezeddwa mu kkooti enkulu okuva mu kkooti ya Mwanga II.
Baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Isaac Musiitwa ne babasomera emisango, ne bagyegaana. Kigambibwa nti Ahimbisibwe ne Asiimwe n’abantu abalala abatannakwatibwa batta omwana Leticia Nangobi, muwala wa Nicholas Mutenda ne Jane Namatovu.
Bazadde b’omwana baasooka kuggulawo omusang ku poliisi e Nateete ogw’okubula kwa muwala waabwe. Poliisi yanoonyereza n’esooka ekwata Ahimbisibwe ne Getrude
Namanda ne beegaana era poliisi n’ebayimbula. Kigambibwa nti nga May 18, 2022 Ahimbisibwe yasanga Namanda mu ppaaka y’e Nateete n’amubuulira nti ye yawamba omwana (Ahimbisibwe) n’amutta kuba maama w’omwana ono yaganza bba. Nti era Ahimbisibwe yabuulira Namanda nti oluvannyuma lw’okutta omwana, yayita owooluganda lwe Anthony Asiimwe omuvuzi wa bodabooda n’amuwa omulambo
aguziike. Ahimbisibwe oluvannyuma lw’okweyabiza Namanda yamusaba badduke
ku kyalo bagende e Mbarara beekweke, wabula Namanda n’agaana era n’abitegeeza ssentebe w’ekyalo James Bbosa. Baagenda ku poliisi y’e Nateete ne bafuna abaserikale
abaakwata Ahimbisibwe era ne bamukunya n’akkiriza okuwamba omwana Nangobi oluvannyuma n’amutuga n’afuna owa bodaboda nnamba UDH 501W Anthony Asiimwe
gw’alinako oluganda gwe yalagira aziike omulambo. Poliisi yakwata Asiimwe
n’abuulira abaserikale nti Ahimbisibwe yamuwa emitwalo 5 okuziika omulambo
era n’agutwala e Nakasozi - Buddo mu Maggwa zooni n’aguziika. Asiimwe yatwala abaserikale gye yaziikan omulambo ne baguziikula. Abawawaabirwa balagiddwa okukomezebwawo mu kkooti oluvannyuma lwa wiiki bbiri ne bazzibwayo ku limanda mu kkomera e Kigo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});