KANSALA eyakwatiddwa ku by’okwamba engoye emyufu ez’efenaanyziriza ebyambalo by’amagye asindikiddwa mu kkomera.
Godfrey Katuluntu 34 ng’akikiirira muluku gwa Bukasa B mu munisipaali y’e Makindye yasimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Makindye n'avunaanibwa okwambala yunifoomu emanyiddwa nti yabitongole ebikuuma ddembe.
Katuluntu yakwatibwa ku ntandikwa ya wiiki eno mu kikwekweto ekyakolebwa abakuuma ddembe bwebafuuza abantu ab’enjawulo beebasuubira okubeera n’ebyambalo ebifananaana eby’abakuuma ddembe.
Kansala ono yasimbiuddwa mu maaso g’omulamuzi Igga Adiru owa kkooti e Makindye n'amusomera omusango era n'agwegaana. Omuwaabi wa gavumenti Carol Opiya yategeezezza nti okunonyereza kuwedde n'asaba omusango gutandike okuwulirwa.
Kkooti eno era yavunaanye Vicent Matovu 56 nga naye kigambibwa nti yasangiddwa ne yunifoomu egambibwa okubeera eyabakuuma ddembe.
Matovu mutuuze mu Kasule zooni e Makindye naye yasimbiddwa ew’omulamuzi Igga Adiru . naye omusango yagwegaanye era baamusindise mu komera.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga May 13 ,2-24 Matovu nga talina lukusa okuva mu UPDF yasangibwa ng’ayambadde yunifoomu emyufu ng’erina obubonero , Langi,ensawo n’enkula yaayo nga kumpi efaananira ddala eya UPDF eyambalibwa mu mikolo.
Katuluntu kigambibwa nti mu kijjwa zooni e Makindye nga kimanyiddwa nti taweereza mu bitongole by’eggwanga ebyokwerinda ebimanyiddwa yasangibwa n’enkofiira emyufu ng’eriko amayinja agambayiddwa nti gabakuuma ddembe aba UPDF