Amawulire

Ambasadda wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira ng'ali n'omumyuka wa Katikkiro wa Namibia

OMUMYUKA wa Katikkiro w’e ggwanga lya Namibia ayise abasuubuzi bannayuganda bagende e Namibia bakole bizinensi omuli okusima eby’obugagga obw’omu ttaka, obuvubi , amafuta n’ebirala amawanga gombi gasobole okufunama

Ambasadda wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira ng'ali n'omumyuka wa Katikkiro wa ambia
By: Joseph Mutebi, Journalists @New Vision

OMUMYUKA wa Katikkiro w’e ggwanga lya Namibia ayise abasuubuzi bannayuganda bagende e Namibia bakole bizinensi omuli okusima eby’obugagga obw’omu ttaka, obuvubi , amafuta n’ebirala amawanga gombi gasobole okufunamu.

 Olukung'aana lwa NAM ne G77 oluli e Munyonyo mu Uganda lwe lundeese mu Uganda era nga Namibia tuluganyulwamu nnyo ne byetugenda okuteesa mbyesunze kubanga mubeeramu ensonga nnyingi ate Namibia lwatuyamba nnyo okufuna obwetwaze mu 1990.

Yagambye nti olukungaana lwa NAM luno batulunuulidde okulaba nga amawanga agatannakula bakola batya okukwatagana ne beerandiza okutuuka ku mutindo gwa mawanga ge bulaaya nga bakolera wamu.

Netumbo Nandi omumyuka wa Katikkiro wa Namibia ng'atuuse ku kisaawe e Ntebe

Netumbo Nandi omumyuka wa Katikkiro wa Namibia ng'atuuse ku kisaawe e Ntebe

            Mu  ngeri y’emu njagala okukakkasa bannayuganda nti enkolagaana ya Namibia ne Uganda yava dda mu bintu eby’enjawulo kyokka ate bwetwagattako okufuna omubaka waffe wano mu Uganda Godfrey Kirumira omuntu ow’amaanyi mu ggwanga ne kisukka.

            “Njagala bannayuganda mukozesse omukisa guno mwetanire eggwanga lya Namibia naddala mwe abasuubuzi abali mu bya mafuta kubanga e Namibia gye gali ng’ate twakagafuna tukyetaaga abantu abaagala okuyingira mu bizinensi eno n’abalina obukugu mugo” bwatyo amyuka Katikkiro we ggwanga lya Namibia Netumbo Nandi Ndaitwah” bweyategezezza.

            Ndaitwah bino yabyogeredde ku kisaawe kye nnyonyi e Ntebe bweyabadde yakatuuka mu kiro ekyakeeseza ku Lwokusattu ku ssaawa 7:30 nga bukya. Era nga yayaniriziddwa minisita omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye, omubaka wa Namibia mu Uganda Godfrey Kirumira n’abakungu abalala.

            Ndaitwah yagambye nti Uganda balina ebintu bingi bye basobola okukolagaana nayo kubanga eri mu bulimu nga balina bye balima ate nga basobola okubirima ne Namibia, obulambuzi, obuvubi ne kalonda omulala.          

            Yasabye omubaka waabwe mu Uganda Godfrey Kirumira okumutwalira abasuubuzi abamaanyi mu Uganda mu Febuary/2024, balabe bye basobola okukolerayo ate nabo amangu ddala basindike abantu baabwe mu Uganda abalina ssente balabye kye basobola okusiigamu ensimbi.

            “Eno nga ye nsonga lwaki twalonda Kirumira okubeera omubaka waffe mu Uganda afukke olutindo olutugatta wakati wa Uganda ne Namibia mu by’obusuubuzi n’enkulaakulana” Ndaitwah bweyategezezza.

 

           

Tags: