ABASAJJA babiri ababadde basima oluzzi, amazzi , gabasaliddeko wansi mu ffuuti nga 60 ne bafiira mu kinnya oluvannyuma lw'okubbira.
Bibadde Buwanyi Cell mu ggombolola y'e Ggoma e Namanve mu Mukono, abasajja bana ng'ababiri babadde waggulu nga n'ababiri babadde wansi, bwe babadde basima, amazzi ne gajja omulundi gumu ne gabasalirako wansi ne bafiira mu kinnya.
John Namirembe 32, ne Fiya Kiri 22 nga bombi bannansi ba Rwanda, be bafiiridde mu luzzi e Namanve era nga poliisi we yatuukiddeyo nga bamaze okufa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire, agambye nti , abantu basaana okubeera abeegendereza nti kuba emirimu gino, gyetaagamu obukugu