Amawulire

Amasannyalaze gasse bbebi abadde azannya ne banne ne basattira!

AB’EKITONGOLE kya UEDCL nga bali wamu ne poliisi, bakyagenda mu maaso mu kunoonyereza ku ngeri amasannyalaze gye gasse omwana omuwala ow'emyaka 5 eyabadde azannya ne banne.

Amasannyalaze gasse bbebi abadde azannya ne banne ne basattira!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

AB’EKITONGOLE kya UEDCL nga bali wamu ne poliisi, bakyagenda mu maaso mu kunoonyereza ku ngeri amasannyalaze gye gasse omwana omuwala ow'emyaka 5 eyabadde azannya ne banne.

Bino byabadde mu zzooni ya Kakungulu e Kibuli mu Kampala, omwana Rehema Ayomirwoth, bwe yakutte ku waya ewanirira ekikondo ky'amasannyalaze ne gamukuba n'afiirawo okumpi n'omwala.

Kyategeezeddwa nti bato banne baasobodde okutemya ku bazadde nabo abaayise poliisi ne basobola okuggyako amasannyalaze n'oluvannyuma ne baggyawo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mulago , okugwekebejja.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, alabudde abantu okutangira abaana obutazannyira ku masannyalaze era n'abasaba okuloopa waya ezibeera zigudde mu bwangu.

Tags:
Masannyalaze
Kusattira
Bbebi
Kuzannya
Kutta